TOP

Akadirisa

Barcelona etembeeya Coutinho

Barcelona eyagala kweggyako Coutinho nti kuba terina nnamba ye etandika

Toure agenze China

Toure wa myaka 36 wabula agamba nti akyalimu ssupu okusitula ttiimu yonna eba emwesize.

Omuzannyi ne kitunzi tebakwataganye

Lozano ayagala kwegatta ku ManU ate kitunzi we ayagala kumutunda mu Napoli

Arsenal eddidde Carrasco

Arsenal yali eyagala kugula Carrasco omwaka oguwedde wabula ne bamubatwalako.

PSG eyingidde olwokaano lw'okugula Eriksen...

Real Madrid ye yasoose okwesowolayo okugula Eriksen wabula kati ne PSG eyingidde olwokaano.

Juventus eswamye Ramsey

Endagaano ya Ramsey mu Arsenal eggwaako sizoni eno kyokka gye baali bateeseteese okumwongera baagiyimiriza.

Ed Woodward yalinnya mu ddiiru ya Perisic...

Mourinho yali amaze akabanga ng'aperereza ssita wa Inter, Ivan Perisic era ng'asuubira okumussa ku wingi aliikirize Romelu Lukaku mu bifo byonna.

Cahill akooye bbenci

Aston Villa, y'emu ku ttiimu ezaagala okugula Cahill kyokka eno ya Championship nga ye ayagala kuzannyira mu Premier.

Mourinho akoze entondo

Jose Mourinho, atendeka ManU agaanyi okunenya abazannyi be oluvannyuma lw’okukubwa Brigton (3-2) ku Ssande ng’agamba nti, “Kansirike buli lwe nnenya omuzannyi...

Gareth Bale yeetisse Madrid

Gareth Bale yatuukirizza okuwera kwe yakoze nti ajja kuziba bulungi eddibu lya Cristiano Ronaldo, eyayabulidde Real Madrid ne yeegatta ku Juventus.

Olupapula Lwa Leero

(Click to Buy and Read Online)
image-1