ENKUBA waliwo lw’etonnya ennyingi n’oluusi okufudemba obutasalako abantu abali mu kuzimba n’abateekateeka okutandika ne basoberwa.
Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa bulungi okwewala okufuna obuzibu...
BULI muntu afuna ssente n’atannaba kuzifuna aloota kimu kugula poloti n’okuzimba awone obupangisa.
Omuntu yenna azimba abera aba ayagala akole ekintu ekirabika obulungi era nga kinawangaala ate nga tekiseerebwa.
JUSTINE Nansasi, 45, omutuuze w’e Kawempe mu Tebuyoleka Zooni, mu ggombolola y’e Nangabo alina ennyumba gy’azimba ya bisenge bitaano.
Abaana bawummudde, abasinga bali waka. Abazadde abaakola entegeka ne bazimba amayumba bali mu ssanyu beeyagala n’abaana baabwe kyokka abali mu mbeera y’okweyiiya...
EKINAABIRO kye kimu ku bintu ebizze byeyubula okuviira ddala ng’abantu banaabira ebweru w’ennyumba, mu nnyumba munda, nga kati bagula biwedde ate nga bya...
EMBEERA y’ebyenfuna mu ggwanga gy’ekomye okwekanama, n’abantu okukaluubirizibwa okukola ebintu ebimu omuli n’abazimba.
ETTAKA kyabugagga ggwe alirina ky’oyinza okukozesa okugaggawala n’obeera mu bulamu obweyagaza.
GILBERT Kayondo ow’e Buloba Kasero agamba nti taliddamu kwesiga muntu yenna k’abe wa luganda oba mukwano gwe.