Abaabudaabuda bantu bawa abasajja amagezi nti nga tebannavaamu kigambo kisaba mukazi mukwano, basookenga kwepima balabe oba basobola okutikkula omukazi...
Omwami agamba nti ekisenge wakifuula kasasiro. Anti byonna by’okozesa mu nsonga zaffe otereka omwo, obuwale bwo obusonseka wansi w’ekitanda nga sibwoze,...
Omusajja okukuba mukaziwe kya bukopi era teri musajja ategeera akikola. Ate okumukuba olw'okugaana okwegatta naawe, kyokka ng'okimanyi nti akyali nnakawere...
Bw’ogenda ku saluuni n’osalawo okutuula awo nga buli mukyala oba omuwala akola n’omwami wo oba gw’asekera olowooza nti amwagala kirabika bubi.
Mwana wange tokkiriza musajja kukusooka waka. Mpulira ennaku zino okomawo ssaawa 6:00 ez’ekiro, ate nti onnyuka ku ssaawa 12:00. Kati okyama wa awakumalira...
Abakyala oluusi beekobaana n'abaana okutulugunya omusajja. Wabula n'abasajja tebatudde. Ebiseera ebisinga basirika wabula ensonga zonna ne baziteeka mu...
Nabaddeko ewuwo naye lwaki engoye ozimansamansa buli wamu, naddala mu kisenge? Obuyonjo tebulina kukoma mu ddiiro.
MWANA wange weebale emirimu era nasanyuka bwe namanya nti kati obufumbo obukutte bulungi. Naye ate waliyo akabulamu nga nako njagala okakole obufumbo butereere....
KITUUFU abagenyi bwe bakyala ewuwo tojjula mmere era oluusi emmere mugiriira mu kisenge n‛abaana bo. Ate ng‛omusajja emmere agigula.
Mwana wange olina okulondako, oyagala bufumbo oba oyagala ssente oba oyagala byombi?