TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Munnaddiini abadde tafiira ku bbala limu

Munnaddiini abadde tafiira ku bbala limu

Added 27th January 2010

Eyali omuwanika w’omuzikiti guno,  Haji Muhammad Matovu yamukwata ku lutambi, era okumala emyaka, lwateekebwangako buli luvannyuma lwa  Juma. Zziwa teyali wa Bukoto-Nateete naye yakozesanga buli mukisa okuzza obuggya Obusiraamu.

Nga  Idi Amin amaze okusiguukululwa mu  1979, Abasiraa

Eyali omuwanika w’omuzikiti guno,  Haji Muhammad Matovu yamukwata ku lutambi, era okumala emyaka, lwateekebwangako buli luvannyuma lwa  Juma. Zziwa teyali wa Bukoto-Nateete naye yakozesanga buli mukisa okuzza obuggya Obusiraamu.

Nga  Idi Amin amaze okusiguukululwa mu  1979, Abasiraamu bangi beekukuma. Abavubuka baalowooza nti kyali kyetaagisa okubazzaamu amaanyi sikulwa ng’Obusiraamu buddirira n’okusaanawo.

Batandikawo emisomo gy’eddiini ku ttendekero lya Bilal  okumpi n’awali akatale ka Kisekka. Bazzaako omuzikiti gw’e Kamwokya n’e Nakasero. Omusomesa omukulu yali Sheikh Zziwa, eyali omwogezi lusirizantamu eyafudde ku Lwokutaano.

Dr.Juma Kizito, mutabani w’omugenzi agamba nti kitaawe yazaalibwa mu 1941 e Luteete- Masooli. Kitaawe ye mugenzi Juma Kizito.
 Nnyina ye mugenzi Tauba Nakazibwe.  Yasomera mu ttendekero lya Bamaseeka e Katuumu mu Bulemeezi eryali ery’omugenzi Sheikh Shiaib Ssemakula, eyali  Mufuti wa Uganda eyasooka.

Haji Kasule Kaggwa, omu ku bagoberezi b’ekibiina kya SPIDIQA Foundation agamba nti Sheikh Zziwa yabanyumiza nti mu 1958, Omulangira Haji Badru Kakungulu yafuna sikaala bbiri okuva e Pakistan.Nga bali ne Sheikh Ssemakula, sikaala emu ne bagiwa Sheikh Abadarazak Matovu, eyali amaze okusoma obwaseeka ng’atunga kyalaani e Katwe, endala ne bagiwa  Sheikh Ziwa, eyali asomesa mu Kimaanya.

“Kaabulako katono omukisa Zziwa gumusube kubanga kyali kyetaagisa 300/- kitaawe z’ataalina, naye olw’okuba e Kimaanya tebaamusasulanga mu mpeke, bwe baamusiibula ne bazimuweerwa wamu, ze yakwata n’awa kitaawe, olwo ne bakola ku lugendo lw’e Pakistan ,” Haji Kasule bw’ajjukira.

 Zziwa yakomawo kuno mu 1974 n’akolerako mu Uganda Muslim Supreme Council n’oluvannyuma ekitongole ky’emmwaanyi ekya CMB okumala emyaka ebiri. Yabivaako n’adda ku gwakusomesa Basiraamu ddiini yaabwe  n’okusaasaanya Obusiraamu mu batannasiramuka (Da’awa).

 Kasule agamba nti nga Amin atonzeewo UMSC, mu ddiini ze yawera  n’aba Ahmadiyyah Muslim Mission e Wandegeya baalimu.
 “Zziwa yalaga obuvumu okuvumirira abaasomesanga Obusiraamu mu bukyali, abantu ne bakuluumulukuka okujjanga ku Bilal we yasomesenzanga n’oluvannyuma e Kamwokya n’e Nakasero,” Kasule bw’ajjukira.

Mu 1982 mu mpaka z’Abasiraamu n’Abakulisitaayo, mwe yawangulira Sheikh Jamil Mukulu Alirabaki Kyagulanyi, eyali omubuulizi w’enjiri kayingo n’asiramuka. Jamil ye yaduumira Abatabuliiki ne bawamba omuzigiti kw’e Nakasero ne Masjid Noor ku William Street awamu ne Kampalamukadde mu 1990.

 Abdarazak Matovu eyali Mufuti wa Uganda mu gy’ekinaana, yalagirako poliisi okusiba Zziwa emirundi mingi era olwava ku muzikiti e Nakasero, amakanda kwe kugazza ku Wilson Road, bwe waafunda ne badda e Mengo-Kisenyi . Eno kati y’eri ekitebe ekikulu ekya SPIDIQA Foundation.

 Haji Kasule agamba nti Zziwa abadde agwa mu ttuluba lya Bamaseeka abakadde abaaweereza Obusiraamu nga tebakulembeza byabwe. “Mu 1979 ye ne Buwembo Kasule baawandiisa akatabo ka Shariat, kyokka aba SPIDIQA bwe baatuuka okwagala okukuba akatabo n’akabakwasa,” bwatyo bwe yategeezezza. Shariat ke katabo akaasooka okugabirwanga obwereere mu Kampala.

Mu ngeri y’emu, aba SPIDIQA beewuunya Ziwa okubategeeza nti yali yabafunira dda ettaka e Mmengo-Kisenyi. Bwe baalimugobaamu, yalibalekera n’atandika okusaalira ku lyali essomero lya Kyaggwe Road okutuusa ate lwe baava ku ky’omuzikiti n’essomero ne batandika okukolerako ebyobusuubuzi. Yabakuba mu mbuga era afudde abawangudde.

W’afiiridde ng’amaze okukola okunoonyereza ku bakoleredde Obusiraamu wonna mu Uganda era aba SPIDIQA Foundation beeyamye okukubisa ekitabo kye mu kyapa.

Zziwa tabadde musajja mugagga naye ng’alina ekisa. Bwe yagendanga ebweru, ensimbi ze yaggyangayo ng’azanjula mu lujjudde n’azigabana ne banne. Bwe yasasulwanga Doola ku UMSC ng’omubuulizi wa yirimu, ng’ezize aziwaanyisizaawo mu za Uganda, olwamalanga okugulako eby’ewuwe ezisigadde ng’azigabira banne.
    
Ng’oggyeeko eddiini, Zziwa ebyobufuzi bibadde bimunyumira era ng’akapiira akasambira ku ludda lwa NRM wadde abadde n’ekibiina kye ekya Uumah Party.
 Abadde tayosa kuwandiika mu mawulire n’okwogerera ku bimeeza bya laadiyo. Alese bannamwandu basatu n’abaana 12 .

Munnaddiini abadde tafiira ku bbala limu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...