TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Kkolera azinzeeko Kampala olw’obujama n’enkuba

Kkolera azinzeeko Kampala olw’obujama n’enkuba

Added 4th November 2009

Beeralikirivu olw’omutindo gw’obuyonjo oguserebye mu Kampala naddala kaabuyonjo okuba entono kw’ogatta emyala egifumbekeddemu kasasiro ne kazambi.
  
Mu Kampala Makindye Divizoni, abantu 3 baweereddwa ebitanda e Mulago kyokka omu ku bo omuwala w’emyaka 10 yafiiriddewo.
Â

Beeralikirivu olw’omutindo gw’obuyonjo oguserebye mu Kampala naddala kaabuyonjo okuba entono kw’ogatta emyala egifumbekeddemu kasasiro ne kazambi.
  
Mu Kampala Makindye Divizoni, abantu 3 baweereddwa ebitanda e Mulago kyokka omu ku bo omuwala w’emyaka 10 yafiiriddewo.
  
Mu kiwandiiko ekyasiddwaako omukono, Ruth Kijjambu town clerk wa KCC gye buvuddeko, abatuuze mu bitundu bya Bwaise, Nansana, Makerere, Makindye, Katanga, Kisenyi n’ebitundu ebirala baalabulwa nti olw’enkuba okutuuka mu December, wandibaawo amataba n’endwadde nga kkolera mu Kampala.
 
Ng’ayogera ku kkolera dokita Joseph Ssenzoga owa Kampala Divizoni yagambye nti abantu 2 baatwaliddwa mu ddwaliro e Mulago bagezesebwe mu ngeri y’okuzuula kkolera engeri gy’akwatamu.
   
Kyo ekibinja okuva mu Uganda Red Cross Society kitandise kaweefube w’okusomesa wamu n’okubalabula okwekuuma nga bayonjo.
  
Mu bitundu nga  Bwaise, Katanga, Kisenyi, Namuwongo,Naggulu, Makerere Kivvulu, Mulago emyala mingi  si migogole ate nga gifumbekeddemu kasasiro, n’obuveera nga n’obusinga obungi bubaamu bbi n’ebicupacupa.
   
Kasasiro ye baana baliwo ate yenna aggweera mu myala ng’enkuba etonnye.  Ebimu ku bitundu nga Go Down zooni e Namuwongo Kisigu, Bokasa Zooni Bwaise, Soweto zooni e Namuwongo A, ne Kivvulu zooni  abatuuze bagamba nti tebalina kaabuyonjo era  beeyambisa buveera.
    
Abakozi naddala abafumba emmere mu bitundu by’omu Kisenyi ne Katanga  essigiri kumpi bazituuza mu mifulejje egikulukusa kazambi ate ne bamala ne baweereza abantu emmere.
 
Wilberforce Mubiru  omwogezi w’akatale ka S.t Balikuddembe agamba nti: Ffe tugezezaako okukuuma omutindo gw’obuyonjo mu Owino mu zooni omunaana.
  
Buli zooni erimu ekibinja ky’abasomesa abavunaanyizibwa ku kusomesa abantu ku ndwadde eziva  mu bujama.
 
Okutwaliza awamu, embeera mu katale kaffe teyeeraliikiriza nnyo wabula tusaba KCC etwongereyo ekimotoka kya kasasiro. Ekiriwo tekimala ate nga kasasiro mungi.
 
N’olwekyo, bw’ojjukira engeri kkolera gye yagoyaamu abantu mu kibuga gye buvuddeko, buli muntu asaanidde okusitukiramu ku mulundi guno.
   
Kkolera afunibwa ng’omuntu yenna anywedde amazzi oba okulya emmere erimu akawuka kano. Obubi bw’omuntu alina akawuka kano nabwo busasaanya kkolera ssaako n’okulya  ebibala ebitawaatiddwako bikuta ate nga si byoze n’ebirala.

Kkolera azinzeeko Kampala olw’obujama n’enkuba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...