TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Adwadwalikanye lwa banene mu Gavt. ababba ng’abantu bafa njala

Adwadwalikanye lwa banene mu Gavt. ababba ng’abantu bafa njala

Added 22nd July 2009

Kyokka Bobi Wine yabadde ayogera ebyo ng’eri omubaka wa Palimenti ow’e Bugisu Nandala Mafabi  ali mu kwesasaabaga nga baminisita 6 ko n’abamu ku babaka ba Palimenti  bwe baagudde ekiyiifuyiifu ku ttaka lya gavumenti ne Namanve ne batandika okuligabana.
 
Mafabi yagambye nti ku yi

Kyokka Bobi Wine yabadde ayogera ebyo ng’eri omubaka wa Palimenti ow’e Bugisu Nandala Mafabi  ali mu kwesasaabaga nga baminisita 6 ko n’abamu ku babaka ba Palimenti  bwe baagudde ekiyiifuyiifu ku ttaka lya gavumenti ne Namanve ne batandika okuligabana.
 
Mafabi yagambye nti ku yiika eziwera 1600 ezaalekebwawo okusimbwako ebibira e Namanve kati abanene baakeegabanyako yiika 600 nga  beeyambisa amakubo ag’ekibbi.
  
Abantu bafa enjala mu Teso kuba gavumenti terina  ssente ezimala okubagulira emmere. Naye ensimbi ezimala  gavumenti eneeziggyawa  bwe kiba ng’abanene  baayo beefunyiridde kuginyagulula ng’ensimbi bazibba, ettaka balibba nabuli kintu kyonna ekirabika n’ekitalabika nga bakibba?
  
Bobi Wine omuyimbi ayitimuse ennyo ebiro bino olw’okwenyigira  mu bintu ebiyamba  omuntu wa bulijjo, bwe yabadde ayanjula  entegeka y’abayimbi gye bagenda  okusonderamu ensimbi  ez’okudduukirira abafa enjala, kwe kusoomooza  ne baminisita  n’ababaka ba Palimenti  nabo baveeyo bakole kye kimu.
 
Obubbi n’obuli bw’enguzi obuli mu gavumenti  bwogeddwaako nnyo ne buvumirirwa kyokka kyewuunyisa okuba nga bugenda bugenzi mu maaso.

 Kidwadwalikanya bwe kiba  nti mu ngeri nnyingi, gavumenti eremeddwa okutuukiriza  obuvunaanyizibwa bwayo olw’obutaba na nsimbi  kyokka ne kiba nti abanene baayo ze babba ne ze bakumpanya bakyazifuna mu bungi.
  
Ng’oggyeeko eky’abafa enjala mu Teso n’awalala olw’obutabaawo nsimbi zimala okubagulira emmere, ate n’eggwanga lyolekedde okufuuka eddungu lwakuba ettaka eryalisimbiddwaamu ebibira  ng’eryo ery’e Namanve, kati ly’eryo abanene lye bagabana balyezimbiremu amayumba!
 
Bobi Wine agamba nti  abanene bakodo  naye ne Ddwaddwaddwa Mumansa ka nkikinale mbuuze, lwaki abanene bayimbagatanyizza obulabbayi ate n’obukodo?

Adwadwalikanye lwa banene mu Gavt. ababba ng’abantu bafa njala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi (mu katono) empya.

Enkalu zeeyongedde ku mmoto...

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine bijjulidde kkooti erina okuyisa ekiragiro ekiwaliriza nnannyini yo okugizzaayo mu kitongole...

Muzaata ne Bakazi be Kluthum ne Bugirita

Ekiraamo kya Muzaata kirees...

SHEIKH Umar Swidiq Ndawula asomye ekigambibwa okuba ekiraamo kya Sheikh Nuhu Muzaata ne kyongera okusajjula embeera...

Abayizi lwe baababuulidde ku Lwokutaano.

Abayizi ba S4 batandise lee...

OLWALEERO abayizi ba S4 lwe batandika okukola ebibuuzo by'akamalirizo bye bagenda okutuula okutuusa nga April 6,...

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...