TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Mwerabira mutya ekiramuso eky'ekitiibwa ne mudda mu kunoonya emirembe n'emmundu!

Mwerabira mutya ekiramuso eky'ekitiibwa ne mudda mu kunoonya emirembe n'emmundu!

Added 3rd May 2012

NEEWAKUBADDE Abasiraamu bakyawaganye nnyo, naye ekirungi buli omu akyatoolera munne “Salaam”.

NEEWAKUBADDE Abasiraamu bakyawaganye nnyo, naye ekirungi buli omu akyatoolera munne “Salaam”. Wabula bwe kiba nti “Asalaam” ky’ekiramuso eky’okwagalizaganya emirembe mu Busiraamu, waliwo okutya n’okweraliikirira kunene
ku binaddirira anti gyo emirembe gitabanguse.
 
Emirembe gitabanguse nnyo ne kituuka n’Abasiraamu okusaalira ku nguudo za Kampala ate nga basaalira ku midumu gya mmundu za poliisi nga bwe kyabadde wiiki eyise. 
 
Okutuuka okusaalira ku midumu gy’emmundu era nakwo kwabadde kunoonya mirembe. Abasiraamu ab’ekiwayi ky’e Kibuli nga bakulemberwa omuzira waabwe Sheikh Muzaata, baabadde batabadde Kampalamukadde, baggye Sheikh Mubajje ku bwamufti bwa UMSC bafune emirembe. 
 
Sso nga ne poliisi ya Genero Kale Kayihura, yabadde emaze okusalawo okweyambisa emmundu okulemeza Mubajje ku bwa Mufti. 
 
Ekyewuunyisa ly’effujjo eryo lyonna okuddirirwa okukuba obululu obw’okulonda enkiiko ezisuubirwa okukuuma emirembe gy’Obuyisiraamu! Naye kale ng’emirembe ginaabaawo gitya ng’okukyawagana kulinnye enkandaggo n’okusaalira Mungu ne kukolerwa ku midumu gya mmundu za poliisi? 
 
Naye mu kifo ky’okwekaabirako lwaki odda mu kuniigiinira mu by’ennaku? Oba nga n’emirembe tokyasobola kugifunira mu kiramuso eky’ekitiibwa ekya “Salaam” naye ng’ofuuse nga bannabyabufuzi abanoonyeza emirembe ewa
Museveni mu State House e Ntebe, olwo kale awo okyaniigiinamu ki ng’Obusiraamu obudibaze okutuuka awo?
 
Okulonda kwa Mubajje kwe yataddewo ne bwe kunaagenda obulungi kutya, kyokka nga Abasiraamu abakwetabyemu emitima gisigadde gibakuusidde ng’ebisinziiro by’ensowera, kyakusaalirwa emirembe tegijja kubaawo.
Emirembe egyo tegiri mu State House ewa Museveni, era tegiri mu mmundu za poliisi ya Kayihura. 
 
Emirembe egyo giri mu Basiraamu kwekuba mu bifuba, bateese ku butakkiriziganya bwabwe buggweewo. Ne bwe kiba nti waliwo ebintu by’Obuyisiraamu ebyabbibwa, leka ababibba beekakabe babiseseme, wabeewo emirembe. 
 
Ddwaddwaddwa Mumansa leka nkikinale mbuuze: Lwaki osuubira nti okulwanagana kw’amagye ga Muzaata ow’e Kibuli, n’amagye ga Nsereko Mutumba ow’omu birenge bya Mubajje ow’e Kampalamukadde,  nti okwo kwe kunaaleetawo emirembe?
 
Awo weerimbye. Weerimbye kubanga eyo si ye mmaanya y’enkoko. Abasiraamu mudde ku mmaanya y’enkoko entuufu.

Mwerabira mutya ekiramuso eky’ekitiibwa ne mudda mu kunoonya emirembe n’emmundu!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe Sserunjogi ng'alaga olukalala oluliko abantu be yagobye.

Ssentebe agobye abakulembez...

Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu. Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko-...

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Okuwulira omusango oguvaanw...

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo...

Kityo eyakuliddemu enteekateeka y'ekyoto ng'ayogera.

''Ababuvuka mugondore amate...

OMWAMI wa Kabaka atwala eggombolola y'e Nsangi, Wasswa Mathias Kutanwa asabye abavubuka okuba abasaale mu kulwanyisa...

Abamu ku baana abaafudde.

Poliisi eyingidde mu by'aba...

POLIISI mu disitulikiti y'e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu, abataano...

Brenda Nairuba ng’apooca mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.

Bba amutemye lwa kumumma ma...

Maama wa bbebi ow'emyezi ebiri apooca. Ali ku kitanda mu ddwaaliro ly'e Kamuli-Mulago ekkulu oluvannyuma lwa bba...