TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Adwadwalikanye olw'obujega bwa poliisi okunoonyereza ku misango eminene

Adwadwalikanye olw'obujega bwa poliisi okunoonyereza ku misango eminene

Added 17th May 2012

KATI kafuuse kagenderere. Poliisi yeeraze nga tesobola kuwaaba bmusango gwa nnaggomola, nga ogw’obutujju oba ogw’okulya mu nsi olukwe n’egusinga.

KATI kafuuse kagenderere. Poliisi yeeraze nga tesobola kuwaaba bmusango gwa nnaggomola, nga ogw’obutujju oba ogw’okulya mu nsi olukwe n’egusinga. 

Bukya Uganda yeefuga, emisango egy’engeri eyo poliisi gyagisibira ddala enkalu. Anti mingi gy’etutte mu kkooti ne gigobwa olw’obutabaako bujulizi bumala, oba olw’okuba ng’okunoonyereza kwagyo kubadde kwa kijega. 

Ku misango emirala nga egy’okubba enkoko, oba okubba amawolu mu kiyungu, ku egyo poliisi yeefuumuula bwefuumuuzi ng’omunafu alima awagonda. 

Naye ku misango gy’obutujju poliisi yaffe njega nnyo, era eyo y’ensonga lwaki ne be yawawaabira ku by’e Bugerere kumpi bonna bejjeeredde ne bayimbulwa. 

Nga e eky’obujega bwa poliisi okuba nga kikubye Gavumenti ensonyi ezitagambika, naye era kibonyaabonyezza nnyo abantu nga batulugunyizibwa era nga basibirwa obwemage mu makomera. 

Kino kigambo kyansonyi nnyo naddala mu kiseera kino poliisi ng’ekulirwa omusajja omuyivu ennyo mu byamateeka ne mu by’okunoonyereza ku byemisango, Lt. Gen. Kale Kayihura era nga n’ebitongole ebiwaaba emisango bijjudde bayivu. Kyokka eby’okuyiga n’okutendekebwa tebikoma. Era eyo y’ensonga ereeseewo obwetaavu. 

Ebitongole bya poliisi ebikola ku kunoonyereza era n’okuwaaba emisango, byonna babiyiwe, ababirimu baddeyo mu kutendekebwa kubanga balaze obujega obw’ejjingirizi mu mirimu gyabwe. 

Eky’omukisa ekiriwo kwe kuba nti poliisi bwejegese mu mirimu gyayo, ate kyo ekitongole ekiramuzi ne kyongera bwongezi okulongooka. Abalamuzi balabikaogwabwe ogw’okuwozesa n’okusala emisango owa mateeka, bagukutte kannabwala. 

Naye nno poliisi y’eyamba abalamuzi okusala emisango egy’ensonga. Awo nno poliisi yo bw’eremererwa okukola obulungi n’okutuukiriza emirimu gyayo, ekyo kyokka kisobola n’okuleeta enkenyera mu byobulamuzi. Ate ebyobulamuzi bwe bijja enkenyera awo ate guba gujabagidde.

Anti ebyobulamuzi biyongobera, abantu ne bakuumirwa mu makomera, nga bano ab’eby’e Bugerere abamazeeyo emyaka ebbiri be ddu, kyokka ku nkomerero ne kizuulwa nga tebalina misango gye bazza.

Era awo Ddwaddwaddwa Mumansa we nkikinalira ne mbuuza nti lwaki obujega bwa poliisi mu by’okunoonyereza n’ebyokuwaaba emisango tebunogerwa ddagala? 

Gavumenti erikomya wa okutunuzibwa ekiwekete olw’obujega bwa poliisi yaayo? Ebyo byonna bitambulira ku nfuga ey’amateeka era essa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu. Okwawukana ku ebyo olwo ensi eba etuuse okugwa eddalu lyenyinni ekkankada. Sikulimbamu naakatono kokka.

Adwadwalikanye olw’obujega bwa poliisi okunoonyereza ku misango eminene

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...