TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Akooye abagagga ne bannabyabufuzi okwezza ssente eziweebwa abawejjere

Akooye abagagga ne bannabyabufuzi okwezza ssente eziweebwa abawejjere

Added 17th August 2012

ABAVUBUKA badwadwalikana nga bagamba nti ensimbi Gavumenti ze yabasuubiza zibayambe okwetandikirawo emirimu eginaabaggya mu bwavu bangi tebannazifuna.

ABAVUBUKA badwadwalikana nga bagamba nti ensimbi Gavumenti ze yabasuubiza zibayambe okwetandikirawo
emirimu eginaabaggya mu bwavu bangi tebannazifuna.

Waliwo okutya nti ensimbi z’abavubuka zino zandibeera ng’ezo Gavumenti ze yaweereza aba disitulikiti y’e Kiruhura zikulaakulanye abeeyo kyokka ne kigambibwa nti abeeyo zaabalema okukozesa.

Abafuzi b’e Kiruhura baasalawo ensimbi ezibalemye okukozesa ku byetaago by’abantu, okuzizzaayo gye zaava.

Wabula ensimbi gye zaava ate si gye zadda. Zaateekebwa ku akawunti ya nnaggagga Godfrey Kirumira mu Kampala (atalina kakwate konna ne Kiruhura) era ye n’azikozesa!

Abavubuka bali mu kutya nti osanga olumu nabo ensimbi Gavumenti ze yabawa, ziryogerwako nga eza abalema
okukozesa era ne kisalibwawo ‘zizzibweyo’ gye zaava.

Abavubuka batya nti n’ezaabwe ziyinza okubeera nga ez’e Kiruhura ne ziwummulira ku akawunti ya Kirumira oba nnaggagga omulala yenna n’azikozesa.

Buno bwe bubbi obwa mamboleewo obubbako abantu ensimbi ze bawa e Kiruhura n’awalala zibakulaakulanye, kyokka ne zimaliriza nga ziggweeredde mu nsawo za bannaggagga be beekulaakulanyizza.

Wateekwa okubaawo obukolomooni obwateekebwawo ne bulemesa ab’e Kiruhura okukozesa ensimbi zino obukadde 190 Gavumenti ze yabaweereza.

Era obwo bwe bukolomooni abavubuka bwe bagamba obuteekeddwa ku nsimbi Gavumenti z’ebawadde.

Obukolomooni buyitibwa ‘Gadibengalye’. Bulemese omuntu omutuufu okweyambisa ensimbi ezimuweereddwa, olwo ne zidiba bo bannaggagga ne baliira mu kavuyo!

Tekimanyiddwa bbanga ki akakolomooni kano aka “Gadibe ngalye” lye kamaze nga kali mu nkola. Naye kirabika nga kano ke kakolomooni akongedde okulaga obubbi obw’ejjingirizi obuli mu Gavumenti yaffe.

Ekibadde kimanyiddwa ky’e kyabakungu abeefuyiridde ku kunyagulula Gavumenti naye ng’ani eyali akitegedde nti ne bannaggagga b’omu Kampala nabo batyagulukukidde ku nsimbi za Gavumenti (ez’omuwi w’omusolo ggwe
nange)!

Era awo ddwaddwaddwa Mumansa w’akikinalira n’abuuza nti oba nga ne bannaggagga obugagga mwe beejaabaatira babuggya mu bulabbayi kati olwo omwana w’omuntu anassa wa omutwe? Kitalo!

Akooye abagagga ne bannabyabufuzi okwezza ssente eziweebwa abawejjere

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu