
MBEEBAZAolw‛okwenyumiriza mu bufumbo bwammwe n‛okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubasuubirwamu ng‛abafumbo.
Obufumbo obutambulira ku mulamwa ogw‛ekika kino tebuyinza kubulamu ssanyu na nkulaakulana. Wabula waliwo ensobi bawala bange gye mukola ate eyinza okubaggyako essanyu lino.
Okusirikira eby‛obugagga byammwe ne mutabibuulirako basajja, baana bange sikiwagira. Embeera eno eyinza obutaganya maka kusigalawo.
Abamu ku mmwe mukoze emmaali, ekintu ekirungi nnyo era mbeebaza obutakoowa kutetenkanya ku lw‛obulungi bw‛amaka gammwe.
Bangi muguze mmotoka ezikola ssente,muguzen ettaka, muzimbye ebizimbe abalabi kwe bakomya amaaso n‛eby‛obugagga ebirala nkumu.
Naye obuzibu bwe ndaba obuboolekedde buva ku kusirika be cce ne mulemwa okubibuulirako bannammwe. Oluusi nno mumala kugwa ku bizibu ne mulyoka mutegeeza abasajja ogubadde oluusi nga tebakyalina ngeri yaakuyambamu. Okuva lwe wayingira obufumbo,kkiriza nti mwafuuka omuntu omu.
Kino kitegeeza nti nga tonnabaako ky‛okola, sooka weebuuze ku munno mukkaanye ku nsonga yonna gy‛oba agenda okukolako. Ne bw‛oba osazeewo kusooka kukola amangu ddala ng‛omalirizza mutegeeze amanye ekiriwo.
Bwe kiba kisoboka muyingize butereevu mu mirimu gino okuva ku ntandikwa. Omusajja yenna buli lw‛omussaamu obwesige obw‛ekika kino, kimwongera amaanyi n‛okwongera okukukkiririzaamu.
Kimuteeka ne mu kifo ky‛omuntu alina obwannannyini ku by‛obugagga bwo okusinga okwetwala nga gwe bitakwatako.
Naye buli musajja lw‛amanya nti okukuta bukukusi ng‛okola ebintu ebyo, naye asala amagezi okulaba ng‛akulemesa n‛obutakuyamba singa ogwa mu buzibu.
Okuwangula omutima gw‛omusajja mu maka,kwe kumutegeeza ku buli kigenda mu maaso mu bulamu bwo. Ne bw‛oba oguze kawale buwale ak‛omunda,kamwanjulire mu ssanyu.
Embeera eno ejja kumuyamba okukuteeka ku mwanjo gw‛obulamu bwe olw‛okukkiriza nga bw‛omwesiga ennyo. Akuume.
Abafumbo temukweka baami byabugagga