TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Temwepena buvuunaanyizibwa bwa kulabirira baami

Temwepena buvuunaanyizibwa bwa kulabirira baami

Added 10th July 2012

MBEEBAZA okwagalana n?okwenyumiriza mu bufumbo bwammwe n?amaka gammwe okutwalira awamu. Musaana mukimanye nti essanyu litandikira mu maka naddala mu kisenge olwo ne lisaasaanira ensi yonna.

MBEEBAZA okwagalana n‛okwenyumiriza mu bufumbo bwammwe n‛amaka gammwe okutwalira awamu. Musaana mukimanye
nti essanyu litandikira mu maka naddala mu kisenge olwo ne lisaasaanira ensi yonna.

Eno y‛ensonga lwaki mulina okulaba ng‛embeera eno ebeerera ebbanga lyonna. Amaka okunyuma, mulina okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubasuubirwamu.

Naye bangi ku bawala bange mulemeddwa okuteeka kino mu nkola. Bangi ku mmwe obuvunaanyizibwa bw‛okulabirira abasajja mwabwepena ne musigaliza bwa kwefaako mwekka.

Temukyalina budde bwoleza basajja na kubagololera ngoye. Oleka otya omusajja okutuula ku ntuumu y‛engoye nga ggwe oli mu bibyo? Bw‛amala ate ne yeegololera n‛otowulira na nsonyi!

Eno y‛embeera ekyusa abasajja obwongo nga banoonya amanyi obuvunaanyizibwa bwe. Okwoza obuwale bw‛omusajja obw"omunda bangi mukulaba ng‛okutulugunyizibwa naye nga kyama kikulu obufumbo kwe butambulira.

Omusajja tayinza butakweyabiza na kukufuula mukwano gwe singa omukolera ebintu nga bino. Naye buli lwe weefuula atalina biseera n‛olemwa n‛okumwoleza sitokisi ebintu tebiyinza kutambula bulungi.

Abasajja balinga baana abaagala okulabirirwa n‛okuteekebwa mu kifo eky‛enjawulo mu buli nsonga yonna. N‛olwensonga eno,omukazi okulemwa okulabirira balo oba osudde obubonero.

Mulabirire abasajja ng‛abakolerera omusaala era mu ngeri eno lwe munaasobola okuwangula obuganzi obutaliiko kkomo n‛okulya ku basajja ebintu okubibamalako.

Naye buli lwe weemalira ku bintu byo byokka ebya munno n‛obiziimuula n‛okwefuula gwe bitakwatako,obufumbo bwammwe butuuse okufuuka olufumo.

Temukema basajja nga mubagalabanja n‛okubatwala ng‛abatalina mugaso.Waliwo abakazi ebweru eyo abalina obukodyo obw‛enjawulo mu kubudaabuda abasajja abayinza okubatebuka singa muzannyira mu nsonga .

Muyige n‛okwegula eri abasajja nga mubatonera ebyo bye mulowooza nga biyinza okubasanyusa. Bangi mubasuubira okubalabirira mu ngeri nnyingi kyokka nga mmwe temulina ke mwerekereza kubaddiza.

Temukoma ku bintu bikalu byokka naye ne mu mboozi zammwe ez‛abafumbo abasajja mubatonere okuva ku byalo okutuuka ku masaza.Eno y‛embeera ejja okubakakasa nti ddala emirimu gyabwe mugisiima. Akuume.

Temwepena buvuunaanyizibwa bwa kulabirira baami

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.