
MULI mutya baana bange, obufumbo mbulwanako okubaawo kubanga gwe musingi oguvaamu eggwanga eritebenkedde wamu n‛abaana abaggumiza ensi eno.
Wabula abamu mugayadde nnyo omulembe ne gutuuka okubaleka emabega ne mwelabira nti waliwo abawala bampulidde kamenya abatuuse okubakuba bbusu.
Obufumbo bwa leero tebwetaagamu bugayaavu, kwekubagiza na kwejjusa. Bwetaaga kuyiiya, okutetenkanya n‛okunoonyereza ku nsonga zonna ezireeta essanyu mu maka. Kino kitegeeza nti olina okuba n‛eriiso eriraba ewala n‛okwekenneenya ensonga.
Bwe ziba ngoye oba musono gwa nviiri nga gwe guzze, siraba lwaki okkiriza okukuyitako.
Kano ke kamu ku bumasu bw‛olina okukozesa okukwata musajja wo. Naye okwefuula atalaba buli ekipya ekijja ne kikuyitako n‛abadda mu ffe twakaddiwa dda, mujja kukifuuwa nga mukizza munda.
Mu ngeri endala mutandike n‛okutambulako mu bifo by‛olukale mulabe ebintu bwe bitambula.
Okusiiba awaka nga kkufulu oba okubeera ku mulimu ebbanga lyonna n‛otofi ssaawo kadde katambulako haaaaa….
Obufumbo obulimu okutetenkanya buleeta essanyu