SSEBO BUKEDDE,
Omwana w’essomero lya Nakasero Primary yattiddwa baasi y’ekitongole kya poliisi ng’ava ku ssomero ku Mmande.
Guno si gwe mulundi ogusoose mmotoka z’ekitongole kino okukola obubenje.
Baddereeva ba mmotoka za poliisi n’amagye bavuga bubi kyokka nga be twandisuubidde okusooka okugoberera amateeka g’oku nguudo.
Bwe gutuuka ku bapoliisi b’ebidduka ate weewuunya kuba be basaale mu kukwata baddereeva abavuga endiima, kyokka bo bwe baba ku luguudo emisinde mmotoka zaabwe kwe zitambulira ogyewuunya.
Simanyi oba amateeka bo tegabakwatako naye tusaba mututaase muwonye obulamu bw’abantu baffe.
Muwandiike ennamba kwe tuloopa abavuga obubi ku mmotoka zammwe nga bwe mwakola ku ezo ezirawuna.
George Ssevvume,
Nateete
Abapoliisi mukyuseemu