TOP

Tukooye abaserikale okutusabiriza ssente

Added 19th January 2013

SSEBO BUKEDDE, Nneemulugunya ku baserikale naddala abakola ogw’obukuumi okutusabirizanga ssente buli kiseera.

SSEBO BUKEDDE, Nneemulugunya ku baserikale naddala abakola ogw’obukuumi okutusabirizanga ssente buli kiseera.

Nsuubira abaserikale bano mulimu gwabwe okukuuma okugeza mmotoka eziba mu paakingi. Abaserikale abo bw’omala okussaayo emmotoka oluusi bajja ne batandika okukusindira ennaku gye balina era nga bwe batalina ssente ne weewuunya kuba si ggwe olina okumuyamba.

Nze nsuubira bw’oba owulira nti omulimu gw’oliko togufunamu ssente zimala guveeko onoonye omulala. Oyo gw’olombojjera ennaku yo si yalina okukuwa ssente okwongereza ku musaala gwo.

Ekibi abaserikale abamu balina ettima. Bw’akumanya nti tomuwa ssente abamu emipiira gy’emmotoka bagiggyamu omukka era otere oboneebone.

Mwogere ne bakama bammwe babongeze emisaala. Tugenda kutandika okubaloopa eri bakama bammwe kuba embeera tugikooye.
Dan Kisitu, Kamwokya.

 

Tukooye abaserikale okutusabiriza ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...