TOP

‘Kasasiro atutta’

Added 6th October 2009

Kuno kwe bagasse embeera embi ey’ebimotoka bya KCC ebimusomba bye bagamba nti bivugibwa bubi, kasasiro n’agenda ng’ayiika.

Okwemulugunya kuno kuddiridde kansala akiikirira omuluka gwa Nangabo ku lukiiko lw’eggombolola y’e Nangabo mu Wakiso, Thomas Kentos Bakyayita ku lw’abatuu

Kuno kwe bagasse embeera embi ey’ebimotoka bya KCC ebimusomba bye bagamba nti bivugibwa bubi, kasasiro n’agenda ng’ayiika.

Okwemulugunya kuno kuddiridde kansala akiikirira omuluka gwa Nangabo ku lukiiko lw’eggombolola y’e Nangabo mu Wakiso, Thomas Kentos Bakyayita ku lw’abatuuze b’ebitundu bino ng’ayita mu bannamateeka ba Sam Kalega Njuba & Company Advocates, okukuba KCC mu mbuga ng’agiranga okulemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’okukuuma obutonde, obulamu bw’ebisolo n’abantu.

Mu bbaluwa eyaweerezeddwa Town Clerk wa Kampala, Ruth Kijjambu yategeezezza nti KCC teyakola kunoonyereza kumala ku ngeri y’okutangira obulabe obuyinza okuva mu kasasiro ayiibwa mu kifo kino.
Bakyayita agamba nti amazzi agava mu kasasiro ga bulabe nnyo era gavuddeko ebisolo bingi okufa ssaako n’okukulukutira mu nzizi abantu ze basenamu amazzi, ekiteeka obulamu bw’abantu mu matigga.

Omutuuze Ronald Mutyaba agamba nti ekifo kino kyabatama dda kubanga kasasiro avaamu ekivundu ekiyitirivu naddala mu biseera by’enkuba era nga kireetedde abantu abali okumpi okutandika okufuna endwadde omuli okuddukana, ekiziyiro n’endala eziva ku bucaafu.

Emmanuel Nsubuga agamba nti amazzi agava mu kasasiro goonoonye enzizi zonna ezaali mu kitundu kino. “Aba KCC baatusuubiza okutuzimbira nayikonto kyokka nazo baakola ntono ate ekizibu ne kisigalawo kubanga n’amazzi agava mu nayikonto geetabikamu agava mu kasasiro era kati gonna gawunya,” bwe yagasseeko.

Zaid Mubiru yagambye nti ebimotoka bya KCC bivugibwa ndiima kasasiro n’agenda ng’akunkumuka mu kkubo n’aleeta ensowera ezivaako okulwala. Ono yawagiddwa Mustafah Sserunjogi ne Dan Almit abaagambye nti ebimotoka ebimu tebiriiko mataala era ekiro biyinza okukutomera.

Ekkumi nga bwe litakyawa omu, James Kyeyune yawaanye ekifo kya kasasiro kino n’agamba nti abantu abalondamu sikulaapu bafuna ssente ezibayambye okulabirira amaka gaabwe n’okuweerera abaana.
Ssentebe wa Lusanja Zooni omuli ekifo KCC mw’eyiwa kasasiro, Samuel Kibuuka agamba nti kituufu nti emmotoka z’akasasiro zivugibwa bubi nnyo era nga ne kasasiro agenda akunkumuka kyokka waliwo ekikoleddwa omuli okuyiwa ettaka ku kasasiro ayiibwa mu kifo kino okulaba ng’ekivundu kikendeera.

Omukungu okuva mu KCC alabirira ekifo kino, Kenneth Kyazze yasambazze ebyogerwa nti amazzi agava mu kasasiro gagenda mu nzizi z’abantu n’agamba nti mu kifo kino waliwo ttanka eyateekebwawo era amazzi gano gye galaga ne galongoosebwa nga tegannaba kuteebwa kugenda mu myala.

‘Kasasiro atutta’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...