Kino kireetedde abamu ku balwadde okudda mu maka gaabwe nga tebafunye bujjanjabi.
Ebimu ku bintu ebiri mu malwaliro gano bikadde nnyo. Okugeza endabirwamu n’enzigi zaayatika era nga tewannabaawo ssuubi lya kuzizzaamu.
Gye buvuddeko eggombolola y’e Kawempe yassaawo akakiiko akaali kakulemberwa Kansala Godfrey Luwagga okunoonyereza ku mbeera embi eddwaaliro lino gye lirimu. Abakulembeze b’eddwaaliro baayitibwa ne bannyonnyola ku mbeera gye lirimu.
Dr. Godfrey Habomugisha yategeeza akakiiko nga eddwaaliro bwe likozesa emisubbaawa mu waadi y’abakazi abazaala ng’amasannyalaze gagenze olw’obutaba na mafuta mu genereeta. Era yagamba nti bafuna abalwadde abasoba mu 150 ng’ate abasawo batono nnyo.
Yayongerako nti mu kiseera ekyo baali bamaze emyezi esatu ng’abasawo tebasasulwa musaala.
Akakiiko bwe kaamubuuza lwaki ambyulensi ekola emirimu egitali gya ddwaaliro yategeeza nga bakama be oluusi bwe bagitwala ne bagikozesa. Era akakiiko kaamuloopera ng’abasawo abamu bwe baggya ssente ku balwadde naddala ez’empiso y’ebisa gye bakuba abalwadde ku mitwalo 10 n’okubbibwa kw’eddagala mu ddwaaliro lino.
Wabula yabaddamu nga bw’atafunanga kwemulugunya kwonna kuva eri abalwadde ng’ate takwatangako musawo yenna. Omukulu ono bwe yatuukiriddwa wiiki ewedde yategeezezza nti amalwaliro ga KCC gonna galina ebizibu eby’enjawulo ng’ate ebisinga bibaddewo okumala ebbanga. Ebimu bikoleddwaako ate ebirala ne bigaana.
Eyali akulira abasawo mu ddwaaliro lino, Teddy Nalwoga yategeeza akakiiko ng’ebintu byonna bwe bikaddiye ng’ate oluusi eddwaaliro lino teribeera na masannyalaze, abasawo batono ate ne geeti y’eddwaaliro eri mu mbeera mbi.
Ate atwala eddwaaliro lya KCC erya Komamboga Health Centre, Catherine Nsubuga yategeezezza nti baamala dda okuteekayo ebizibu byabwe eri bakama baabwe babayambe kyokka tebannaba kubaddamu. Yayongeddeko nti balina n’ekizibu ky’amazzi aganjala mu luggya lw’eddwaaliro lino nga kyetaagisa okusalira amagezi kyokka tewali kyali kikoleddwaawo.
Akulira akakiiko kano Steven Mungi yategeezezza nti waliwo ebimu ku bintu ebikoleddwa nga okusasula abasawo, ettaka ly’okugaziya amalwaliro gano bwe liwedde okugulwa ssaako n’eddagala erimala okuteekebwa mu malwaliro gano kyokka n’ategeeza nti ebitakoleddwa kivudde ku nsimbi entono ze balina.
Kansala Tamale Kiggundu yategeezezza nga disitulikiti bwe yakkirizza okuzimba ekikomera ku ddwaaliro lya Komamboga Health Centre oluvannyuma lw’akakiiko kano okwemulugunya ku bubbi obuzze bubaawo mu ddwaaliro.   Kansala Robert Nsumba eyali ku kakiiko akaakola ku kunoonyereza ku malwaliro gano yagambye nti kati embeera mu ddwaaliro lya Kawempe Health Centre etandise okulongooka nga n’oluguudo oluyingira mu ddwaaliro lwaggwa okukolebwa.
Ate kansala akiikirira omuluka gwa Kawempe 1, Frank Kateregga yagambye nti eddwaaliro lino liyambye nnyo abantu mu kitundu kino naddala abatasobola kufuna bujjanjabi mu malwaliro malala olw’ebbula lya ssente. Wabula bakansala baawaanye emalwaliro gano nti gayambye nnyo abatuuze.
Tuzaalira ku misubbaawa mu malwaliro - ab’e Kawempe