TOP
  • Home
  • Ssenga
  • ‘Takuba alemeddwa emirimu gye’

‘Takuba alemeddwa emirimu gye’

Added 23rd June 2009

Kansala Tamale Kiggundu akiikirira Komamboga:?Akakiiko akalina okussa mu nkola ebiyisiddwa kkanso tekalina kye kakoze. Kkanso eyisa pulojekiti ey’okukolebwa era ne kkampuni ekola omulimu guno n’eragibwa kyokka gye bigweera ng’omulimu tegukoleddwa. Olukiiko lwa Town Clerk lulina okutunuulwamu o

Kansala Tamale Kiggundu akiikirira Komamboga:?Akakiiko akalina okussa mu nkola ebiyisiddwa kkanso tekalina kye kakoze. Kkanso eyisa pulojekiti ey’okukolebwa era ne kkampuni ekola omulimu guno n’eragibwa kyokka gye bigweera ng’omulimu tegukoleddwa. Olukiiko lwa Town Clerk lulina okutunuulwamu okusobola okutereeza entambula y’emirimu.

Kansala Robert Nsumba owa Makerere 2: Tumaze ebbanga nga twemulugunya ku makampuni agaweebwa kontulakiti ne gatakola mirimu gino kyokka kkanso bw’esalawo basazeemu endagaano zaago ng’olukiiko olukulemberwa Town Clerk lubategeeza nga bwe gajja okuwaawaabira eggombolola olw’okusazaamu ttenda ekirabika nga kizingamizza emirimu mu Kawempe.

 Amakubo omuli Gowan Road oluli e Bwaise, Zadok Road mu Kawempe II zaakolebwako bitundu kyokka amakampuni agali galina okukola omulimu guno tegaddamu kukola era nga kkanso tetegeezebwanga nsonga eyavaako omulimu guno okuyimirira.

 Ate sipiika w’olukiiko lw’eggombolola Benjamin Mukasa ne Nassiwa Bernadatte akiikirira Mulago 3: Emirimu obutakolebwa bulungi kivudde ku nsimbi entono ezikunganyizibwa mu misolo mu ggombolola ssaako n’ezo ezirina okukola ku bintu ebitali bimu, Town Clerk z’asiiba abagamba nti disitulikiti teziweereza.
 Ate Kateregga Kannakulya owa Bwaise 3:Ebbanga ssentebe w’eggombola ne Town Clerk lye bamazze nga beennyonnyolako ku nsimbi ezigambibwa nti zaabulankanyizibwa likosezza eggombolola kuba tewali kibadde kitambula. 

 Charles Sserubiri akiikirira Kyebando Nsooba: Bakansala bakoze omulimu gwabwe kyokka akakiiko ka Town Clerk tekakola ku bintu biba biyisiddwa kkanso wabula ebyo byokka be baagala nga babirinamu ebigenderwa bye bafaako,  ekivuddeko emirimu obutatambula.

Ye Agnes Babirye akiikirira omuluka gwa Makerere 3: Akakiiko ka Takuba tekalondodde bulungi nsonga ziyisibwa kkanso okulaba nga zissibwa mu nkola ekizingamizza emirimu.

Frank Kateregga owa Kawempe 1: Waliwo ebimu ku bintu ebikoleddwa omuli ezimbe ky’eggombolola ekiri mu kuzimbibwa, enguudo ezimu ezikoleddwa omuli Nyanzi Road oluli e Kyebando, Takuba Road, emyala omuli Kawasi oguli mu Kawempe 1 n’omulala oguli mu Bwaise 2.

Takuba mu kusoma bajeti y’eggombolola ey’omwaka 2009/2010 yategeezezza nti wabaddewo obutakwatagana wakati wa disitulikiti n’eggombolola era nga kino kiviiriddeko ssente okuva ku disitulikiti obutatuuka. Yagambye nti ssente obukadde 900 ezalina okuweerezebwa eggombolola yafunako 140 zokka.

Wabula emivuyo gyonna Meeya wa Kampala, Nasser Ssebaggala agitadde ku Town Clerk Nooh Bukenya gw’alumirizza nti ssente zimuweebwa ez’okukola ku ggombolola kyokka n’atategeezza kkanso.
Yasabye ssentebe n’abamu ku bakasala bagende ofiisi ye abalage empapula.

‘Takuba alemeddwa emirimu gye’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...