Ebifaananyi

'Aloga bannakampala ali ku Mapeera waggulu gy'abalabira', ebifaananyi 17

Bw’otuuka mu Kampala tolemwa kulowooza nti waliwo omuntu abafuuyira Bannakampala emmindi badde ku muggalo.

'Aloga bannakampala ali ku Mapeera waggulu gy'abalabira', ebifaananyi 17
By: Patrick Kibirango, Journalist @New Vision

EKIBUGA kimaze ennaku 42 nga kiri ku muggalo olw’ekirwadde kya Corona era omukulembeze w’eggwanga yaakavaayo ennaku ssatu emabega okuggulawo n’alagira abantu okugoberera amateeka ga minisitule y’ebyobulamu agatangira okusaasaana kwa Corona naddala okwambala masiki.

Ono ddereeva wa ttakisi tayagala kumanya

Ono ddereeva wa ttakisi tayagala kumanya

Ku bantu e 100 b’osanga 10, be bambadde masiki, ate 80 bazirina kyokka bazifudde midaali gya mu bulago oba ky’oyinza okuyita okuzisiba bbaalansi ekiyinza okukuloowoozesa nti si kye kyabadde ekiseera ekituufu abantu bano okuggyibwa ku muggalo.

Ono yabadde yeetambulira 'nagalaaliyasire' nga tafaayo

Ono yabadde yeetambulira 'nagalaaliyasire' nga tafaayo

Waliwo abaserikale abali mu ngoye eza bulijjo abeetisse omugugu okujjukiza abantu okwambala masiki kyokka nabo babawereekereza ebisongovu.

Ekyewuunyisa wadde abakyala bamanyiddwa mu kugondera amateeka naye ate ku luno be basinga okusiba masiki bbaalansi ekiraga nti batya okusangula lipusitiiki waabwe ku mimwa okusinga okufa ku kirwadde kya Corona.

'Yambala masiki yo mangu teweekoza' , omuserikale bwe yalabise ng'agamba omukazi eyabadde atadde masiki mu bulago

'Yambala masiki yo mangu teweekoza' , omuserikale bwe yalabise ng'agamba omukazi eyabadde atadde masiki mu bulago

Bano baabadde banyumya nga tebeefiirayo

Bano baabadde banyumya nga tebeefiirayo

Bano ababbooda bo tebaagala kumanya

Bano ababbooda bo tebaagala kumanya

Ono essimu gy'akuba ndowooza emusingira obulamu

Ono essimu gy'akuba ndowooza emusingira obulamu

'Aaaaaaaaah naawe nze ndeka'

'Aaaaaaaaah naawe nze ndeka'

Tags:
Ebifaananyi 17
Covid 19
Masiki

Emboozi Ezifanagana