Bya Ivan Wakibi
ABAYIZI n’abasomesa ku ssomero Al Bayan Quran Memorization Centre P/S mu kibuga Iganga balaze essanyu olw’okuyita ebigezo eby’Olusiraamu Islamic Primary Leaving Exams (IPLE) by’omwaka oguwedde.
Akulira essomero lino, Hajji Mohammad Ngobi agambye nga bwe baatuuza abayizi 19 nga bonna bayitidde mu ddaala erisooka nga bana ku bbo bamazeeko n’obunero 4 ne basinga mu kitundu kya Busoga.
Onno asuubiza okubasalira ente ng’ ebigezo bya P7 ebya UNEB bikomyewo olw’okubasiima n’asaba abazadde Abasiraamu obutasuulirira kusomesa baana baabwe ddiini nti kubanga bafunamu empeera n’okutwara eddiini mu maaso.
Ebigezo bino ebitegekebwa UMSC era byafulumiziddwa olunaku lw’eggulo.