Abavubuka ba ggombolola Mutuba III Makindye nga bakulembeddwa ssentebe waabwe Paul Kizza baasimbudde ku St. Denis Catholic parish Lukuli okwetooloola Makindye mu misinde gya Kabaka's birthday Run egyabaddewo eggulo.
Abavubuka Abadduse Nga Bali Mu Kifaananyi Eky'awamu.
Bano baasimbuddwa omwami w’eggombolola Hajji Musa Musoke Ssemambo era nga beegatiddwako ne sipiika wa diviizoni ya Makindye Charles Luba saako ne bakkansala ab’enjawulo.