Bya Musasi Waffe
Biibino ebifaananyi ebiraga poliisi engeri gye yakuttemu ababaka ba palamenti abakazi 11 abaabadde beekalakaasizza wabweru wa palamenti eggulo.
Bano baabadde beekalakaasizza wabweru wa palamenti nga bawakanya engeri gye balemesebwamu emikolo gy’okukuza olunaku lw’abakyala.
Ababaka Nga Batandika Okwekalakaasa.
Ababaka Nga Beekalakaasizza Ku Palamenti
Wano Nga Bayomba Ne Poliisi
Omubaka Nga Bamuyingiza Mu Mmotoka
Ababaka Nga Babanyiga Mu Mmotoka
Omubaka Nga Abapoliisi Bamunywezezza
Mu bano mwabaddemu: Joyce Bagala, Stella Apolot, Juliet Kakande, Florence Kabugho, Betty Ethel Naluyima, Joan Acom Alobo, Asinansi Nyakato, Hellen Nakimuli, Joan Namutawe, ne Hanifa Nabukeera. Ebifaananyi byonna bya Mariam Namutebi.
Oluvannyuma Sipiika wa Palamenti yabiyingiddemu ne bateebwa.