Balubbira bapoliisi bazudde emirambo emirala esatu ku bantu abaafiiridde mu nnyanja eryato kwebabadde basaabalira bweryabbidde. Leero embeera y’obudde ebakaluubirizza omulimu olw’enkuba ebadde etonnya. Mu bafudde kuliko n’omuvubuka abadde asamba omupiira mu Akright e Bwebajja.