Distuliki y’e Bukomansimbi eteereddwako kalantini wa mwezi Mulamba nga teri kutambuza bisolo yadde ebibivaamu okumala omwezi Mulamba. Kiddiridde obulwadde bwa Kalusu okusalako disitulikiti ng’okusinga buli mu magombolola 5 agaliraanye district ezaasooka okulumbibwa. Abaayo basabye gav’t okwanguya okubafunira eddagala erigema ebisolo byabwe.