Bannalotale n'abantu abawerera ddala emitwalo 6 be beetabye mu misinde gy'okulwanyisa obulwadde bwa kookolo eggulo ku ssande.
Whatsapp Image 2025 08 31 At 8.04.34 Am (1)
Ekigendererwa ky'emisinde gino, kwe kufuna ssente z'okumaliriza okuzimba ekizimbe kya Cancer Centre ku ddwaaliro e Nsambya mu Kampala n'okukissaamu ebyuma eby’omulembe n'ebikozesebwa ebirala ebinaayamba ku bujjanjabi buno.
Amyuka gavana wa bbanka enkulu eya Uganda, Polof Nuwagaba naye yabaddeyo.
Bw'abadde ayogerako eri abeetabye mu misinde gino ku kisaawe e Kololo, eyaliko disitulikiti gavana Steven Mwanje, agambye nti mu 2023 baasonda akawumbi kamu. Ayongeddeko nti mu 2024 ne basonda obuwumbi 2 n’obukadde 100 nga ku luno bafunye obuwumbi 3 n’ekitundu.
Annyonnyodde nti baagala mu 2027 ekifo kino, kibeere nga kikozesebwa. Ate ye Rotary International director nominee Emanuel Katongole, agambye nti emisinde gino, gigendererwamu okutaasa abo abalina obulwadde bwa kookolo era omulimu gwatandika emyaka nga mwenda egiyise.
Abaana abato nabo baabaddeyo
Ayongeddeko nti Bannayuganda bafa olw'obulwadde buno nga newankubadde bajjanjabibwa.
Agasseeko nti batandise okutendeka abasawo abagenda okukozesa ebyuma ebinassibwa mu kizimbe kino mu ddwaaliro e Nsambya, asabye abo bonna abasobola okuwaayo okugenda mu maaso n'okubadduukirira.
Gino emisinde tegyabaddeko mweru na muddugavu!