OMUYIMBI Pasita Amon Daddy ayimba ennyimba za gosipo ng’era y’omu ku Bapasita
b’omu Kkanisa ya Robert Kayanja e Lubaga, akubye ebirayiro by’obufumbon obutukuvu ne Rhonah Faith.
Baalayidde mu maaso g’Omusumba Robert Kayanja ku Kkanisa ya Miracle Cathedral e Rubaga gye buvuddeko era omukolo gwetabiddwaako abantu abeebitiibwa abawera.
Pastor Amon ayimbye ennyimba okuli; Mu Ggulu waliyo Katonda, Daddy Daddy n’endala.