KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abatongole ba Kabaka okukola emirimu gya Kabaka obuteerekamu nga bwebanakola bwebati kyakuyamba mu lugendo lw'okuzza Buganda ntikko.
Katikkiro Mayiga mu kifananyi n'abamwetikidde ebirabo
Mayiga agambye nti Omutongole muntu mukulu mu ntambuza n'okunyiririra kw'emirimu mu Bwakabaka bwatyo n'abasaba nti baleme kulinda kukola n'amaanyi nga bawereddwa obuvunanyizibwa obunene okuli okubeera owoomuluka oba ow'eggombolola.
Okwogera bino asinzidde Bulange-Mmengo mu nsisinkano gyabadde nayo n'Abatongole ba Kabaka okwogera nabo ku nsonga ez'enjawulo mu Bwakabaka n'okulaba etambuza y'emirimu nga bwesobola okulinyisibwa omutindo.
" Leka kugamba nti emirimu oligikola ng'ofuuse ow'eggombolola nedda kola emirimu egigendera ku bwaami bwo, ginyikize awatali kwekwasa nsonga yonna," Mayiga bwagambye.

Abantu nga baleeta amakula
Mu kukola kino, Mayiga agamba nti ekitiibwa ekyannamaddala ekitambulira ku buvunanyizibwa bwa buli omu lwekisobola okulabika obulungi mu bantu nga si kyogerere.
Katikkiro Mayiga era asibiridde abaami bano n'entanda ya bintu musanvu Omutongole omuwereeza omulungi byasaanye okubeera nabyo okuli okweyisa obulungi, okubeera omukozi, atambuza obulungi abantu, ate n'okwambala obulungi.
"Omutongole abeera mukozi, Muntu mulamu, mu makaage mubeeramu eddembe, abeera atukirikika, abeera n'abantu mu ssanyu ne munnaku, yeewa ekitiibwa- ennyambala, si y'asemba ku bidduluza, Omutongole agatta bonna- mu Ddiini, eby'obufuzi n'amawanga- olina okubeera mugatta," Mayiga bwalambuludde.

Mag 9
Ye Minisita wa gavumenti ez'ebitundu abaami bano mwebagwa agambye nti abaami abatongole bayawuddwamu emiteeko ebiri nga guno ogusoose Katikkiro Mayiga gwasoose okusisinkana kyokka n'abalala wakubasisinkana.
Kawuki asabye abaami bano nti nga bawereeza balabe nga bafuuka entabiro y'ensasaana y'amawulire amatuufu okuva mu Bwakabaka eri abantu be bakulembera saako n'okulaba nga bamanya buli ekifa mu bantu nga bakiropa mangu mu baabatwala.
Hajjat Janat Namatovu Omutongole w'ekyalo Mawaanyi- Bwebajja mu ggombolola Musaale Ssisa yeebazizza Ssabasajja Kabaka olw'okubawa Obwami buno bwatyo n'akunga baami banne okulaba nga bakunga abantu okwenyigira mu nteekateeka z'Obwakabaka nga Oluwalo, okuleeta amakula, Emisinde n'ebirala.
Omukwanaganya w'emirimu mu Minisitule ya gavumenti ez'ebitundu, Kamisona Harris Lubega asabye abaami okujjuza enkiiko zaabwe ate n'okutumanga bannaabwe ku mikolo kwebatasobodde kutuuka