EMMWAANYI terimba! Eno ye ng’ombo Gerald Byansi gy’atandika nayo ng’akunyumiza engeri okulima emmwaanyi gye kukyusizza obulamu bwe n’atuuka okutuula n’abalangira wadde teyasoma kugenda wala. Byansi omu ku bagagga mu kibuga Kanoni mu disitulikiti y’e Gomba gy’alina yiika z’emmwaanyi 80, eza kkooko 20, ekyuma okuli ekisunsula emmwaanyi n’ekikuba kasooli nga byonna abiggye mu kulima mmwaanyi.
Mu mboozi za Bukedde eza Omulimi Asinga 2026, HERBERT MUSOKE,
akuleetedde emboozi ya Byansi ng’akulaga olugendo lwe nga omulenzi eyava mu kusoma nga bukyali olw’ebbula ly’ensimbi, omuvuzi wa boda, kyokka nga leero omu ku
balimi b’emmwaanyi aboogerwako.
Empaka z’Omulimi Asinga zitegekebwa kkampuni ya Vision Group etwala ne BukeddeN okuyita mu New Vision Foundation okuyita mu pulogulaamu etuumiddwa Vision Initiative for Sustainable Agriculture (VISA) ng’ekolaganira wamu n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda, ne zissibwamu ssente bbanka ya dfcu, kkampuni ya Koudijs n’eya Royal Dutch Airlines.
AYINGIRA BIZINENSI
Byansi (46) agamba nti, mu butasoma olw’ebbula ly’ensimbi, yagenda ewa mukulu we Steven Ziraba eyali asuubula emmwaanyi. “Nnalaba bazadde bange nga balwana okutufunira emmere, ne mmanya nti, obulamu bw’omuntu busobola okukyuka singa akola n’amaanyi,” Byansi bw’agamba.
Yatandika okuvuga boda wakati wa Kanoni ne Masaka, okutunda ennyaanya, obutungulu n’enva endiirwa ku nguudo n’agenda ng’ayiga bizinensi y’ebirime. “Okufuba okwasooka kwannyamba okwezimba mu ngeri y’okuddukanya bizinensi. Nakimanya nti, singa nkola obuteebalira, ebirungi bisobola okufunibwa,” ByansiN bw’agamba.

Byansi ng’alaga obukuta bw’emmwaanyi bw’akozesa okugimusa ennimiro ze.
ATANDIKA OKULIMAYatandika ne yiika z’emmwaanyi bbiri ku ttaka eryamuweebwa kitaawe, wadde kyamutwalira emyaka okukungula era yasigala asuubula. “Kitange yang’amba nti, nga njagala obulamu obutebenkevu, nalina okussa essira ku bizinensi eriko ky’efulumya kuba obusuubuzi busobola okufiirizibwa ekiseera kyonna. Amagezi gano gaakyusa buli kimu,” Byansi bw’agamba. Okulima emmwaanyi kyali kimaze okufuuka ekitundu ku bulamu bwe, era olw’okwagala okutandika okuzirima nga bizinensi, yatwala obudde okuyiga okuzirima ng’ayita ku misomo gya TV, leediyo kw’ossaokugyetabamu n’okukyalira abalimi abaazirina okumulambika.
ENSOBI EZAAMUSOMESAByansi agamba nti, wadde yali alambudde abalimi n’okwetaba mu misomo, alina ensobi ze yakola mu ntandika ezaamuwa ekyokuyiga okuli;
Okwanguwa okugaziwa. Yasimbako yiika ttaano omulundi gumu nga talina bakozi bamala wadde ssente z’okuzirabirira. Wakati mu kunoonya ssente, yayingira okulima entangawuzi wakati wa 2015-17 kyokka ne zimwokya era n’afiirwa ssente. Agamba nti, yayiga nti si buli kirime nti kikola ssente mu ngeri y’emu, ate nga tonnateeka ssente
nnyingi mu bizinensi, manya akatale n’ebyetaagisa mu ndabirira y’ekirime ky’oyingirira.
OKUGAZIWA Byansi yagenda agaziwa mpola nga bw’agenda agula ettaka okuva ku baali bamutuukirira obutereevu. Yagenda okutuuka mu 2020 ng’awezezza yiika z’emmwaanyi 60. Kino kyamuleetera okutandika okulowooza ku kugatta omutindo kuvAnnyonnyola nti, mu yiika y’emmwaanyi asimbamu ebikolo 420-450 n’akungulamu ensawo za kibooko 25 nga zizitowa kkiro 85 buli emu. Kibooko kkiro ya 6,500/- kyokka
bw’ekubwamu kase, mu nsawo 25 eza kibooko muvaamu eza kase 11 nga buli emu ezitowa kkiro 100 olwo buli kkiro ya kase n’egula 12,000/-.
OKULIMA KKOOKO
Mu myaka egiyise, Byansi yatandika okulima kkooko oluvannyuma lw’okulambula abamulima n’okukizuula ng’aliko akatale k’ebweru kanene.
Yatandika ne yiika za kkooko 20, nga kati alina 25 nga yeemezesereza ensigo.
“Ntera okugenda mu bugwanjuba bwa Uganda okukyalira abalimi ba kooko nga kino kinnyambye okutegeera endabirira ya kkooko entuufu era nkakasa nga ng’enda kwongera ennyingiza,” Byansi bw’agamba.
ENDABIRIRA YA FAAMU ENTUUFUEkisooka, kukebeza ttaka w’ogenda okusimba omusiri gw’emmwaanyi omupya osobole okulissaamu ebiriisa ebyetaagibwa zisobole okubala. Okukoola, okukola n’ebyuma ate n’eddagala okukakasa ng’ennimiro ekuumibwa nga nnyonjo ekiseera kyonna.
Ennimiro y’emmwaanyi era erimu ensalosalo ezikwata amazzi okukendeeza okukuluggusibwa kw’ettaka ate n’okukuuma amazzi mu ttaka n’obugimu.
Mu kiseera ky’okukungula, balonda mmwaanyi emmyuufu okukuuma omutindo basobole okufuna ekiwera.
OKUFUKIRIRAOlw’enkyukakyuka y’embeera y’obudde nga kizibu okutegeera ddi enkuba lw’eneetonnya, Byansi agamba nti, yassa obukadde 20 mu kusima ddaamu y’amazzi n’okussaako pampu ekozesa amasannyalaze g’enjuba okutuusa amazzi ku bikolo by’emmwaanyi, wadde akyalina okuteekateeka okulaba nga yiika zonna 60 zifukirirwa.
Ono era mu mmwaanyi yassaamu ebitooke by’agamba nti, bimuyamba okufuna emmere ate n’ennyingiza ya buli lunaku okufuna ssente ezimuyamba okutambuza ffaamu buli
lunaku.
OKUKWATA SSENTEByansi agamba nti, okuzimba bizinensi enzigumivu, kikulu okubeera n’enkola y’okukwata ssente. Agamba nti, ssente ezisinga zigenda mu kutereka n’okuzimba bizinensi ng’ayambibwako okwewola okuva mu bbanka nga ssente azissa mu kugula ttaka, ebyuma n’okufukirira.
FAMIREByansi agamba nti, mukyala we Betty Namusoke n’abaana bonna beenyigira mu nzirukanya ya ffaamu era bategeera bulungi enkwata ya bizinensi n’okukuuma omutindo.
Namusoke agamba nti, buli kimu ekikolebwa ku ffaamu bakyenyigiramu kuba Byansi nabo abasomesa n’okubawa obukugu obw’enjawulo gamba okulaba n’okulondamu emmwaanyi zokka ezengedde mu kiseera ky’okunoga, okwanika ku matundubaali n’ebirala.
Ba Byansi bagamba nti, baagala okuzimba omukululo gwa bizinensi egenda okubeerawo okuyita mu migigi egy’enjawulo.
OKUZIMBA EKITUNDUByansi alina abakozi 15 ab’enkalakkalira kw’ossa aba lejjalejja 60 ku ffaamu n’ekyuma. Abakozi abasinga bavubuka b’afuna okuva mu bitundu ebimwetoolodde. Ffaamu efuuse ekifo abantuwe bagenda okutendekerwa mu nnima n’endabirira y’emmwaanyi entuufu okukakasa ng’amakungula geeyongera n’okukuuma omutindo.
Byansi agabira abantu mu kitundu emijoozi okuli obubaka obubakubiriza okulima emmwaanyi ate n’okutegeka ebijjulo okusanyukakoN nabo okugabana ku buwanguzi.
OKUSOOMOOZEBWAEnguudo embi ezikalubya okutambuza emmwaanyi mu bitundu eby’enjawulo.
Okuvaavaako kw’amasannyalaze nakwo kugootaanya entambuza y’emirimu ku kyuma, bbeeyi y’amafuta epaala buli lunaku nayo ekalubya entambula n’okufuula omulimu ogw’obuseere.
EBISEERA EBY’OMU MAASO “Ekirooto kyange kya kubeera ne yiika z’emmwaanyi 300 nga zonna zifukirirwa, okugula loole endala okwanguya entambula, n’okuzimba
ekifo aw’okutendekera abalimi n’abaagala okuyingira obulimi bw’emmwaanyi ne kkooko.