Seminario ento ey’e Kisubi, ew’olerezebwa Yezu Kabaka ne Karooli Lwanga, ejauzza emyaka 75 byukya egunjibwawo. Y’atadikibwabwawo omugenzi Ssabepiskoopi Joseph Louis Cabana euali Ssavasumba w’e Lubaga mu 1951, era ng’abayizi baayo ababereberye kwaliko omugenzi Fr, Francis Xavier Mugambe, ne John Chrysostom Ssempiira aky’aliwo.
Kisubi
Omukolo ogwokujaguza gw’abadde ku seminario e Kisubi, ku Luguudo lw’e Ntebe (Wakiso distrit), ku Lwoukaaga nga June 2 2027.
Missa y\akulembeddwa Ssabasumba Paulo Semogerere ngali wamu ne Ssabasumba Dr. Augustine Kasujja (naye eyasomera e Kisubi), n’Abasaseerdooti abalala abaasobye mu 250.

Ebikujjuko by'emyaka 75 egya Kisubi
Ssaabasumba Ssemogerere y’atenderezza Ssabepiskoopi Cabana olw’okwolesebwa kweyafuna bweyatandikawo seminario eno, gyeyagambye nti evuddemu ebibara bingi, omuli Abasaserdooti, Abepiskoopi (nga Omubaka wa Paapa De. Kasujja n’Omwepiskoopi Joseph Antony Zziwa), Bannaddiini, n’’Abakristi Obukristu.
Yasabye Ssenkulu waayo, Faaza Fracis Ssengendo, ne baakola nabo, okutwala mu maaso ekigendererwa kyomugunji waayo, ngabagunjula bulungi abaseminari, mu magezi, empisa, n’eddiini.
Yasiimye abazadde olwokuwa Seminario abaana, n‘abasaba bagende mu maaso n’okuwagira okuyitibwa kwabwe.
“Twebaza Katonda olw’ekisa kye. Atambudde ne Seminaio eno, ng’agigabirira, era ng’agyitaasa, mubiseera eirungi, nebizibu. Twogere okutambula n’obuvumu. Abaseminario baffe twongere okubayamba okumanya ekyabaleeta wano, anti okugoberera Kristiu yekka, ate n’okumwemaliza.”
Kisubi seminary @75
Ssenkulu wa Seminrio eno,, Fr. Francis Ssengendo yakakasizza Ssabasumba nti bakyasimbidde ddala mu buufu bwa Ssabepiskoopi Cabana, era nga bali mukuzimba ekizimbe gaggadde, abaseminario abangi abaky’eyongera okwettanira seminario eno babe ngabasomesebwa mu mbeera ennungi.
MUSABE EMIREMBE
Ssabasumba Ssemogerere y’asinzidde kumukolo guno n’avumirira abanyu abamu abatwalira amateeka mu ngalo nebakola ebikolobero ku Bannauganda n’abasaba b’eddeko, era basseemi amateeka g;eggwanga ekitiibwa.
Y’aknnze Abakristu basabe nnyo, era basiibe, Katonda asobole okutaasa eggwanga, ebikolwa eby’okutyobola eddembe ly’obuntu bikome, abantu baggweemu okutya,n’okweeraliikirira