Ebifaananyi

Obukulu bw’okuteekateeka ekifo w’ogenda okussa ffaamu y’ente

OKUTEEKATEEKA ekifo w’ogenda okukolera gumu ku misingi egigenda okukuyamba okuzimba bizinensi egenda okunyweera eyite mu muyaga n’emigigi egy’enjawulo.

Kasirye ng’annyonnyola by’olina okutandikirako ng’oteekateeka ffaamu y’ente.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OKUTEEKATEEKA ekifo w’ogenda okukolera gumu ku misingi egigenda okukuyamba okuzimba bizinensi egenda okunyweera eyite mu muyaga n’emigigi egy’enjawulo.
Bangi bwe bafuna ekirowoozo ky’okuyingira obulunzi, batandikirawo awatali kufuna kuwabulwa kw’abakugu ku ngeri gye basobola okuteekateeka n’okukozesa ekifo kye balina mu ngeri egenda okubayamba okukifunamu ekiwera.

Mu kuteekateeka ekifo kyo, kikuyamba okumanya ebintu ku ffaamu we bigenda okussibwa okugeza; ennyumba z’ente, ez’abakozi, sitoowa y’emmere (omuddo, ebirungo nga bulandi n’ebirala), ekifuuyiro, awakuumirwa ezirwadde, abagenyi we batuukira n’okubeera, mmotoka n’ebidduka ebirala we bisimba oba okukoma n’ebirala.
Kino kikuyamba okwewala okusoomoozebwa ng’obubbi, okusaasaanya endwadde okuva ku bagenyi, ebidduka n’ebirala, okutaataaganya emirimu gamba singa mmotoka ereese ebintu eyingira ate nga n’ab’omuddo basala, okutereka obulungi emmere n’ebirala.
l Okukozesa obulungi ekifo : Okubeera n’enteekateeka ennung’amu ku ngeri gy’ogenda okukozesa ettaka mu ngeri ekusobozesa okufuna ekiwera mu kifo ekifunda. Singa obeera n’enteekateeka ekulambika awagenda ennyumba, awanaakolebwa emirimu ng’okutema omuddo, okukama n’ebirala, kiyamba emirimu okutambula mu budde ate mu bwangu.
l Okwewala okudda mu biwedde : Olw’okuba obeera n’enteekateeka ekulambika, ogenda kwewala okudda mu bintu by’obeera omaze okukola. Okugeza ebizimbe obissa mu bifo ebituufu ate ne bizimbibwa mu ngeri entuufu ne weewala okubimenya biddibwemu singa oluvannyuma okizuula nti, byazimbibwa bubi era mu bifo ebikyamu. Kino era kiyamba okukendeeza ensaasaanya ya ffaamu.
l Okukuuma obutonde : Olw’okuba obeera weeteeseteese bulungi, ogenda kusobola okussaawo enkola n’emitendera egiyamba okukuuma obutonde n’ettaka. Okugeza ogenda kwetegekera enkwata y’obusa (kasasiro), okusimba emiti, ekifo awafuuyirirwa ente n’ebirala mungeri y’obuvunaanyizibwa. Jjukira ente z’olunda zeetaaga obutonde obulamu obulungi okusobola okukuwa ekisinga.ng’oggyeko kino, ogenda kusobola okumanya engeri y’okusima emyala egigenda okutambuza amazzi okwewala okubisiwaza ennyumba, okutangira mukoka n’ebirala.
l Okutangira obulwadde :
Olw’okuba obeera n’enteekateeka ennung’amu, ogenda kusobola okussaawo enkola ezikuyamba okwewala obulwadde. Olw’enteekateeka eno, ogenda kusobola okumanya w’ossa enkomera, enzigi, eddagala n’ebirala okutangira ente okuva mu nnyumba emu okudda mu ndala, ebisolo n’abantu okuva ebweru ne bimala gayingira ebiyinza okuyingiza ebirwadde mu ffaamu yo.
l Okwanguya emirimu ku ffaamu : Ffaamu eteekeddwateekeddwa erambika amakubo omuyitibwa n’ebifo awakolerwa emirimu egy’enjwaulo ekiyamba abakozi okwanguyirwa nga bakola emirimu gyabwe ate n’okutangira okwonoonebwa kw’ebintu ng’ebizimbe oba ebirime ebiteereddwa ku ffaamu ng’abakozi batetenkanya bwe bakola emirimu.
l Okukuuma obuyonjo :
Obuyonjo kimu ku bintu ebikulu ku ffaamu. Kiyamba okukuuma omutindo gw’ebiva ku ffaamu gamba, amata ng’ogakamira mu kifo ekiyonjo, w’ogatereka n’ebirala, okutangiraendwadde gamba ng’obulwadde bw’ebbanyi mu nte eziyonsa. Okubeera n’enteekateeka ennungi ku ffaamu kikuyamba okussaawo enkola y’okukuuma ffaamu nga nnyonjo ng’ozimba ennyumba ezanguwa okuyonja, okwawula ente we ziriira, okuzannyira n’okuwummula ate ne wokung’aanyiriza obusa.
l Okukuuma ebitabo : Ebitabo bya ffaamu kimu ku by’olina okussa mu nteekateeka ya ffaamu kuba bino bigenda kukuyamba okulondoola ssente z’ogenda okussa mu ffaamu okutandikira ku ntandikwa. Obutatandikirawo n’okuwandiika by’okola ku ffaamu yo, kye kimu ku bivaako abalunzi obutabeera na bitabo nga yeebuuza w’agenda okutandikira oluvannyuma lw’emyaka.
Ng’oggyeeko okulondoola entambula ya ffaamu, kigenda kukuyamba okuzuula ensobi ate n’okumanya w’olina okutereeza oba okunwyeeza.
Ebitabo ebikuumiddwa obulungi bigenda kukuyamba mu kusalawo ebiseera bya ffaamu eby’omu maaso ate n’okumanya by’olina okukola mu budde obutuufu.
Biwandiikiddwa

Tags: