Ebifaananyi

Omuyimnbi wa Kkwaya ya Yesu Kabaka Agness Ndagire asiibuddwa mu bitiibwa

Omuyimbi wa kkwaya ya Klezia ya Yezu Kabaka, Agnes Lillian Ndagire Ssenkubuge eyafa ku Bbalaza (Monday, September 21, 2026), bayimbi banne bamusiibudde mukitiibwa. Missa ey’okumusiibula y’anbadde mu Klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala, ku Lw’okubiri nga September 22, 2026.

Ndagire Agness mukyala wa Ssenkubuge bwati bwabadde afaananan
By: Matthias Mazinga, Journalist @New Vision

Omuyimbi wa kkwaya ya Klezia ya Yezu Kabaka, Agnes Lillian Ndagire Ssenkubuge eyafa ku Bbalaza (Monday, September 21, 2026), bayimbi banne bamusiibudde mukitiibwa. Missa ey’okumusiibula y’anbadde mu Klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala, ku Lw’okubiri nga September 22, 2026.

okusabira omubiri gwa Mukyala wa Ssenkubuge Ndagire Agness mu klezia Ya Yesu Kabaka

okusabira omubiri gwa Mukyala wa Ssenkubuge Ndagire Agness mu klezia Ya Yesu Kabaka

Bweyabadde ayigiriza mu mmisa, Bwanamukulu w’ekigo kino, era nga ye Viika Genero w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Msgr. Gerald Kalumba, y’atenderezza nnyo Agnes Ssenkubuge,  gweyagambye nti abadde ayagala nnyo obuweerezaabwe obw’okuyimba ennyimba ezitendereza Katonda. Y’ategeezezza nti omugenzi ono ekitone kye Katonda kyeyamuwa akikozesezza bulungi, n’ayamba nnyo Abakristu okusinza obulungi Katonda waabwe.

Minisita w'abazirwanako Kiryowa Kiwanuka ng'ali mu kisabira Agness

Minisita w'abazirwanako Kiryowa Kiwanuka ng'ali mu kisabira Agness

 “Kituwa ennyiike okulaba nga Agnes Ssenkubuge bulijjo gwetulaba ng’ayimba mu kkwaya, kati agalamidde aawo mu kkeesi, tatunyega. Abadde munyiikivu mubuweerezaabwe, Abadde teyeebalira, nga’waayo obudde bwe, n’ensimbi ze okutuukiriza obutume bwe. Buijjo abadde aweereza ngatanoonya kumanyibwa, oba okubaako ky’afuna. Tumwebaza nnyo. Afiiridde mukiseera ngatwakaziika omuyiiya w’ennyimba z’ediini, , Fr. Dr. James Kabuye. Tumusabire amusisinkane, ate bakole kkwaya ey’omu ggulu, bongere okutendereza Katonda, ate n’okutusabira,” Msgr. Kalumba bweyategeezezza.

Agnes Ssenkubuge era y’atenderezeddwa nnyo nebayimbi banne, ab’aamwogeedeko nga omukyala abadde ayagala ennyo bayimbi banne, era muzzanganda abadde atabaganya abayimbi aba kkwaya ez’enjawulo, eza Klezia eno..

Abalala abaasiimye Agnes kw’abaddeko minista w’eby’okwerinda  Defence Kiryowa Kiwanuka Mugambe, munnakatemba era omuwandiisi w’ennyimba Aloysius Matovu Joy eyamuwaanye ng’ayita mu kitontome, n’abalala bangi.

Okusabira omwoyo gwa Agness

Okusabira omwoyo gwa Agness

Omunene wa kkampuni ya Quality Chemicals Dr. Emmanuel Katongole, ne Ssabasumba Paulo Ssemogerere, nabo baawerezza obubaka.

Omukolo gw’etabiddwako n’abanene abalala, okw’abadde eyali Vice-President wa Uganda Dr. Specioza Wandira Kazibwe, eyali Kaliisoliiso wa Gavumenti Olive Beti Namisango Kamya, omukungu Hope Mukasa, Munnalotale Mike Ssebalu, Ssenkulu wa Uganda Communications Commission Nnyombi Thembo, n’abalala bangi.

Bannabitone okwabadde Bebe Cool, Ragga Dee, Dr. Bbosa, Silver Kyagulanyi, n’abalala bangi, nabo beetabye mukusiibula Agnes.

Kkwaya ey’awamu, egatta kkwaya zonna eza Klezia ya Yezu Kabaka (Christ the King Choir’s Association) y’eyayimbye mu mmisa, era nga y’akozesezza ennyimba Agnes z’abadde asinga okwagala.

Omugenzi Agnes Lillian Ndagire Ssenkubuge ey’afiiridde ku myaka 63, y’abadde mukyala w’a munnakatemba Charles Ssenkubuge Siasa, gw’amaze naye emyaka 35 mu bufumbo.

Y’aziikiddwa Ssanga, Nakawuka, mu disitulikit y’e Wakiso ku Lwokusatu nga September 23, (2026).

Omugenzi Agnes Ssenkubuge bulijjo anajjukirwanga olw’ettoffaali eddene ly’atadde ku Kkwaya ya Yezu Kabaka. Mukiseera weyabeerera omukulembeze waayo, kkwaya eno yeeyongera nnyo omutindo, n’eyitimuka nnyo, era n’eyitibwa emirundi mingi okwetaba mubivvulu eby’ensi yonna, mumawanga nga Germany, America, Canada, Rwanda, Kenya, n’amalala

Tags: