KCCA yeeyamye okukola ku bizibu by’abasuubuzi mu Kampala bye baagisindidde nti byagala kubagoba mu mirimu gyabwe.
Abasuubuzi mu bibiina okuli; FUTA, NETA, KACITA, UNATEA UG n’ebirala bwe baakung’aanidde ku ssomero lya Kitante P/S ku Lwokubiri, baasindidde abatwala ekibuga omuli dayirekita Sharifah Buzeki ne Loodi meeya Ronald Balimwezo ennaku gye bayitamu.
Eky’abaserikale ba KCCA okubakubanga oluseke nga beekwasa obusongasonga yabadde ku mwanjo nga n’abasuubuzi abamu tebakyalina we bakolera.
Bagasseeko ebizibu ebirala omuli obutabafaako nga bannannyini bizimbe abababinika ssente mu kusasula amasannyalaze, kaabuyonjo ne kasasiro ate nga KCCA erambika ssente ndala. Bennyamidde olwa KCCA okuggala ebizimbe olwa bannannyini byo obutasasula musolo gw’amayumba bo abasuubuzi ne bafiirwa ate nga baasasula layisinsi.
Mu kubaanukula, Loodi meeya Balimwezo yagambye abasuubuzi nti kirungi okwegatta baoogeze eddoboozi erimu. Yategeezezza nti bafuna amabaluwa agava mu bibiina eby’enjawulo nga beemulugunya ku nsonga ez’enjawulo kyokka nga KCCA, tebalina kibiina na kimu kye bamanyi mu butongole.
Yagambye entalo zaabwe ze zibaleetedde okulwawo okufuna ssente z’abasuubuzi abafiirwa emmaali mu mataba nga buli kibiina kiwakanya amannya agatwalibwayo n’asaba abasuubuzi okuzeewala.
Dayirekita wa KCCA, Sharifah Buzeki yagumizza abasuubuzi nti baakukola ku nsonga ezibaluma era baakutunula mu bibangirizi bye balina balabe oba basobola okussaawo ekifo we bakolera.
Wabula abasuubuzi kyababuuseeko bwe bategeezeddwa nti nnannyini kizimbe bw’aba alemereddwa okusasula ssente z’omusolo gw’amayumba, abapangisa kibakakatako okugusasula baleme kuggalibwawo kizimbe mwe bakolera