GAVUMENTI eggye envumbo ku kuvuba mukene okwetooloola eggwanga n’essaawo ebiragiro mwenda ebikakali abamuvuba bye bateekeddwa okutuukiriza.
Mu bye bateekeddwa okutuukiriza mwe muli eky’okuvuba mukene ennaku 14 zokka mu mwezi.
Bino byakakasiddwa minisita omubeezi ow’ebyobuvubi, Robert Migadde nga asinziira ku Media Centre mu Kampala eggulo ku Lwokubiri.
Yategeezezza nti abavubi ba mukene baddembe okuddamu okuvuba kasita banaabeera nga batuukirizza ennambika 9 empya ezibateereddwaako nga ku zino kwe kuli;
lOmuntu yenna ayagala okuvuba mukene ateekeddwa okuba ne layisinsi nga eno okugifuna balina okusooka okukwekenneenya obulungi nti ebyetaagisa byonna obituukiriza.
l Obunene bw’amaato agavuba mukene bukendeezeddwa nga kati eryato lirina kutandikira ku bugazi bwa ffuuti 24 okudda waggulu.
lOkuweebwa layisinsi oteekedwa okubeera nga obadde ovuba waakiri okuva emabega mu 2023 .
l Obutimba ekika kya ‘chota - chota’ bwe bukkirizibwa okuvubisa mukene kyokka obw’ekika kya Lampara n’obwo obw’okugatta si bwakuddamu kukkirizibwa kukozesebwa.
lEttaala za sitima bbiri zokka ze zikkiriziddwa okukozesebwa mu maato mu kuvuba mukene eza solar zoziwereddwa.
lAbantu 2 bokka be bajja okukkirizibwanga mu lyato mu kuvuba mukene so nga ate era abavubi ba mukene buli mwezi bajja kuvubangamu emirundi ebiri gyokka. .lAbavubi ba mukene era bajja kuvubiranga mu kirommita 2 zokka okuva ku lubalama.
Minisita yagambye nti emyalo eginaalema okugondera ebiragiro bino gyakuggalwa, wabula n’agumya abavubi nti ku mulundi guno bafuddeyo nnyo ne baddamu okutendeka abaserikale b’oku mazzi okulaba nga bakola bulungi omulimu gwabwe awatali kutulugunya bavubi.
Yagambye nti okutuukiriza kino, abaserikale bajja kuba bakyusibwakyusibwa obutamanyiira nnyo kitundu kimu n’okwewala emize gy’obuli bw’enguzi.
ABAVUBI BA
MUKENE BASANYUFU
Abavubi ba mukene basanyufu olw’oku bakkiriza okuddamu okuvuba mukene.
Harriet Kyabayiga yeebazizza Gavumenti olw’okuddamu okubakkiriza okuvuba.
Buno we bijjidde nga RDC w’e Kalangala, Fred Badda yavuddeyo n’alambika emyalo egigenda okuvuba mukene e Kalangala wabula waliwo egitakkiriziddwa nga abatuuze basaba nagyo bagitunulemu.
Abakulembeze okubadde Francis Byamugisha n’omubaka wa Bujumba Willy Lugoloobi baasabye minisitule eyongere okusomesa obulungi abavubi naddala ku biragiro bino ebijja.
Emyalo egyalimu obuvubi bwa mukene mu kiseera kino gibadde mu mbeera mbi wabula balina essuubi nti ebyenfuna bigenda kuddamu okutereera