TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Naloose ndaba emisota mu nju yange kitegeeza ki?

Naloose ndaba emisota mu nju yange kitegeeza ki?

Added 14th September 2010

James mu Nyendo Masaka, agamba nti nnyina yakoma dda okuzaala wabula yamuloose ng’azadde omwana ng’amumukwasa. Wabula yabadde yaakamumuwa omwana n’afa. Oluvannyuma yeetegerezza omwana wabula n’akizuula nga tannafa. Kitegeeza ng’omu ku bantu b’ebukojja bwo atanneetuuka bw’anaatera okuza

James mu Nyendo Masaka, agamba nti nnyina yakoma dda okuzaala wabula yamuloose ng’azadde omwana ng’amumukwasa. Wabula yabadde yaakamumuwa omwana n’afa. Oluvannyuma yeetegerezza omwana wabula n’akizuula nga tannafa. Kitegeeza ng’omu ku bantu b’ebukojja bwo atanneetuuka bw’anaatera okuzaala omwana mu ngeri eneewuunyisa buli anaakiwulirako.
Kabonge e Wankulukuku abuuza nti kiva ku ki okuloota ebibala nga ffene, ebikajjo, kasooli n’ebirala. Kiranga mirembe na mikisa wakati wo n’omu ku bantu b’olinako akakwate ku buzaale.

Moses e Kyakatebe yaloose ng’alaba emisota emingi nga gijjudde mu nnyumba ye. Kitegeeza nga bwe waliwo abantu ababi abatakwagaliza mirembe bwe bakwebunguludde. Osaanye obe mwegendereza mu buli kimu naddala ku bantu abakuli okumpi.

Ono yaloose ng’agenze ku luzzi n’asangayo ennyana enjeru ng’enyirira nnyo ng’esibiddwa ku muguwa. Yabadde yeesika ng’eyagala kumutomera wabula ng’omuguwa tegugiganya. Kitegeeza ng’ebukojja bwo bwe wanaatera okubaayo omukolo ogwamaanyi wabula nga waliwo ensonga ezitagenda kukuganya kugwetabako.

Jane e Bunnamwaya yaloose ng’akyawaganye ne muganzi we.  waliwo omuntu owookusatu ayagala okwenyiga mu mukwano gwammwe ekintu ekiyinza okuguleetera okusasika.

Josephine e Mengo yaloose nga waliwo omusajja amugamba akke mu kinnya yeebake kyabugazi  amwambulule. Kikulabula okwerinda omusajja ow’ebizibu ebingi anaagezaako okukukwana. Kirungi n’omwesamba nga tannakuletera mitawaana  kubanga olabika nga  tojja kumusobola.
Ono yaloose nga bayita mu nsozi wabula nga waliwo mukwano gwabwe agenda amansa ebinusu nga bo balonda. Kitegeeza kuwona amaluma g’oludde nga weeraliikirira ennaku zino.

Paul e Ntebe yaloose ng’akwatidde empologoma mu kifuba kye wabula nga telina ky’emukola. Kitegeeza nga bw’onootera okutegeeragana n’omuntu bwe muludde nga muneneng’ana.

Peace e Makindye yaloose ng’atambula ne muganzi we nga beekutte mu ngalo wabula ng’alina nnamagalo ku ngalo ze ssatu kyokka bulijjo tamulina. Oluvannyuma baasanze mikwano gyabwe nga bagenda ku mbaga ne babasaba bagende bonna. Kikulabula okwerinda omusajja omukalabakalaba anaakutokota akwerabize ne by’obadde olowooza. Fuba okulaba ng’osigala ku mulamwa.

Ono yaloose nga mugagga. Kikujjukiza ng’ekiseera bwe kinaatera okutuuka otuuke ku kiruubirirwa kyo. Yongera bwongezi maanyi mu mirimu gy’okola ojja kugifunamu ekiramu.

Emma e Nateete yaloose nga nnyina alina engeri gy’amubuuliriramu naye nga baseka. Kikujjukiza ggwe ne baganda bo okwo-
ngera okussa omulaka ku bigambo bazadde bammwe bye baababuuliriranga.

Naloose ndaba emisota mu nju yange kitegeeza ki?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...