TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okuloota ng’otambulira mu mazzi kuba kufuna ssente

Okuloota ng’otambulira mu mazzi kuba kufuna ssente

Added 1st December 2009

Jjukira nga kino ky’ekiseera okwezimba obuggya mu bantu bokolagana nabo ennyo.

Lwanga mu ndeeba atera nnyo okuloota kojja we eyafa era omulundi ogusembyeyo yamuloose nga bali mu lusuku lwa muliraanwa we naye nga mugenzi kyokka kojja we n’amuwa akaveera akeeru nga kalimu ebinusu bingi.

Jjukira nga kino ky’ekiseera okwezimba obuggya mu bantu bokolagana nabo ennyo.

Lwanga mu ndeeba atera nnyo okuloota kojja we eyafa era omulundi ogusembyeyo yamuloose nga bali mu lusuku lwa muliraanwa we naye nga mugenzi kyokka kojja we n’amuwa akaveera akeeru nga kalimu ebinusu bingi. Kitegeeza ng’entandikwa y’ebintu by’oluubirira bw’eneekugendera obulungi. Kino kijja kwesigama ku nkolaganayo ennungi n’abantu b’ebukojja bwo.

Joana yaloose ng’ali masaka ku bukojja bwe naye ng’ali ne banne bagenda kukwata nseenene emmanju we nnyumba ya kojja we naye yafa dda era teyamuziikako. Kitegeeza emizizo n’obulombolombo bye mugayaliridde okukola n’okutuukiriza ebukojja bwo. Kirungi oyiteyo obategeeze ku kirooto kino

Sebalamu e Mbikko yaloose ng’ababbi basima ennyumba ye naye baagenze okulaba nga baana ba ku kyalo. Kikulabula okwongera amaanyi mu nkuuma n’entereka y’ebintu byo okwewala ababbi abakumanyi endya n’ensula ate nga naawe obamanyi naye nga tokimanyi nti babbi.

Nabunnya yaloose nga mwannyina amusalako enviiri. KItegeeza nga bwe waliyo essuubi ly’ebintu byo okugenda obulungi mu maaso. Lekeraawo okutiitiira.

Namukasa e Ntinda yaloose ng’alwana n’abantu batamanyi. Bwe baba nga baakuwangudde, kitegeeza nga bw’oli omutiitiizi mu bintu by’okola naye bw’oba wabawangudde kitegeeza buwanguzi mu mirimu gyo.
Nakamya e Mulago yaloose ng’amira wuzi eno nga bwezimutuga ate nga bw’amala naddamu nazimira. Kitegeeza nga bw’oyolekedde okukola  ekintu ekinaakutuusa n’okukwononera erinnya lyo. Kale osaanye weegendereze nnyo mu buli ky’okola n’okusengejja mu bigambo by’oyogera osobole okukuuma erinnya lyo.

Semanda e kirinnya yaloose akabwa akato nga kamuluma. Kiranga bulumbaganyi n’oluyombo ebinaabaawo wakati wo n’omuntu atali wa ddaala lyo mu bantu b’obeera nabo.

Nantege e Mityana yaloose nga bali mu kusima binnya bya muwogo naye nga mukulu we amuvuma nti tamanyi  Kikulabula nga okwekuluntaza bwe kutajja kukugasa wabula okukufiiriza obufiiriza. Laba nga wejjamu omuze ogwo.

Mishelle e Kigumba atera okuloota ng’atambulira mu mazzi oba ng’agalaba. Kitegeeza kufuna ssente naye ng’omaze kuzituuyanira.

C.N e Kinaawa yaloose ng’ali mu nju ennene ng’agenda aggulawo enzigi. Bwe yayingira mu kisenge eky’okusatu n’asangamu bbaawe eyamufaako kati omwaka gumu oguyiseewo naawawamuka nga bwamubuuza abaana baabwe. Kitegeeza nga bw’olina engeri gye weeyisaamu era nga n’obuvunaanyizibwa bwo okyabutambuza bulungi, okuva lwe yafa. Awo woba ogendera.

G.W.M e Kireka yaloose nga waliwo abamugoba n’abuuka olukomera n’ababulako. Kitegeeza nga bw’olina ekirowoozo ekibi ekyekuusa ku byenfuna yo, nga bw’otokiveeko kyandikusuula mu kkomera.

Yusuf e Mbikko yaakamala ennaku satu ng’aloota alaba emmunyeenye ezigenda ezikyusakyusa mu bibinja by’azo. Kitegeeza nga ggwe oba omu ku mikwano gyo bwe munaatera okufuna ekintu ekinaabasanyusa ennyo.

Farouk e Nateete yaloose nga basaala kyokka nga waliwo aboogerera mu ‘swala’. Kino kirooto kibi nnyo. Kitegeeza nga bw’olina abantu bookolagana nabo oba b’oyita nabo naye ng’abamu baabulabe gy’oli. Kale kyandibadde kirungi otandike okwewala ebibinja byabwe.

Hakim e Salaama yaloose ng’ali mu katale. Kitegeeza kwetaba mu bivvulu oba mu nkuuka. Beera bulindaala kuba biyinza okubeera eby’amasanyu oba eby’ennaku.

Joseph e Luwafu yaloose ng’atutte muganzi we gw’ategattangako naye mu wooteeri okumuwaamu kyokka omuwala n’ayasa amasowaani. Kikulabula nga bw’olina ekkubo ly’okutte nga kyamu. Sala amagezi okwate ekkubo  eddala nga bukyali kuba ayinza okukuzaalira emitawaana gy’otasobole.

Okuloota ng’otambulira mu mazzi kuba kufuna ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...