TOP
  • Home
  • Ssenga
  • okuloota ng’olya ffene giba mikisa

okuloota ng’olya ffene giba mikisa

Added 24th November 2009

Kitegeeza nga bw’onootera okulaba, okuwulira oba okufuna enkyukakyuka mu byobufuzi oba mu bukulembeze mu ggwanga oba mu kitundu kyo.

Kale nga zibzdde zikoleddwa temwekanga kubanga kibalagiddwa nga bukyali.

C.K e Nsambya yaloose nga mukyala we amubuulira nti taata we omuto ya

Kitegeeza nga bw’onootera okulaba, okuwulira oba okufuna enkyukakyuka mu byobufuzi oba mu bukulembeze mu ggwanga oba mu kitundu kyo.

Kale nga zibzdde zikoleddwa temwekanga kubanga kibalagiddwa nga bukyali.

C.K e Nsambya yaloose nga mukyala we amubuulira nti taata we omuto yamukase omukwano. Kitegeeza omuntu omukyamu anaatera okukuleetera olugambo olunaakutabulatabula ne mikwano gyo oba ne baganda bo bwe mukolagana ennyo lubatuuse n’okusasika. Kino kyetegekere kuba ofunye kulabulibwa.
 AISHA e Luzira yaloose ng’abatemu bamutema. Kikulabila okukyusa ku ntambula zo naddala mu budde obw’ekiro, kikutaase omuntu omukyamu akulondoola.

Victo e Mityana yaloose alya ffene. Kitegeeza emikisa gy’otateekwa kusubwa ng’ekyetaagisa kwe kuyiga engeri gy’oteekwa okugikozesaamu kuba bw’onoogijaajaamya gijja kukufa..

Mutebi e Fort portal yaloose ng’alaba ensanafu zimuluma ate n’alaba ekisaanyi ekinene. Kitegeeza ng’okukontana ne banno bwe kutakuyamba  nga kirungi mutambulire wamu nga mukkaanya musobole okwezimba..
B.J e Nansana yaloose ng’alaba ssente emmese ze yabba wabula bwe yazitadde wansi empewo n’ezifuumuula ne zimulema okukwata. Kikulabula okukomya okwerumya mu byenfuna. Ensimbi z’ofuna ne bwe zibeera ntono, zeeyambise bulungi lwe zinaakugasa okusinga okuzikekkereza nga tozifunamu.

Cathy yaloose nga muganda we omusawo amugamba nti alina kkansa. Kitegeeza nga bw’onootera okufuna ekizibu kye wali ofunyeeko olulala. Tetenkanya olabe ng’ekizibu kino okisalira amagezi ng’obudde bukyali kigende okukutuukako nga wakyetegekera dda. Olwo lwe kinaakwanguyira okukivvuunuka nga tokaluubiriddwa mu buli nsonga yonna sinakindi okufuna amagezi agakiwugula.

ajeera, yaloose ng’ali mu takisi n’egwa ku kabenje nayagala okuyita mu ndabirwamu y’omu maaso agwe wabweru wabula n’atagwa. Ababaddemu bonna  baayiseemu ne bagwa. Wabaddewo omu takisi gwe yatemwemuu ebitundu bibiri. Kiranga okweyongera kw’obubenje bw’ebidduka obw’okumukuma, omunaafiira abantu abangi.

ERA yaloose ng’ali mu Kkanisa wabula nga bonna abalimu bato. Ababuulira n’abayimba nga tewali atwala munne. Kitegeeza okudobonkana nga bwekweyongedde mu nsi, nga ne mu ddiini abantu beyongera bweyongezi okweyisa nga buli omu bw’alaba.

SCOVIA ku Kaleerwe aloota nnyo nga yebase ne kitaawe mu buliri. Kiranga ng’ebikolwa eby’obugwenyufu bwe byayingira edda mu famire yammwe era ng’omuntu eyabiyingiza bw’ali ow’obulabe ennyo na ddala eri abaana ab’obuwala abakyali abato.

ERA yaloose ng’abuka mu bbanga naye nga tagwa. Kitegeeza intu ekikyamu ekigenda nga kikulondola, naye nga Katonda akyakuyamba, n’akiwugula yongera okumusaba n’okumwebaza.

J.M ow’e Tororo yafuna akabenje ne bamutekamu ebyuuma naye atera okuloota ng’atambula bulungi. Kitegeeza ekyetaago ekikyakulemye okutuukako kubanga olimu ekizibu eky’okwetya oba okwenyoma.
  
JANE ow’e Kasazi -Buddo yaloota ng’ali mu nnimiro z’abantu baatamanyi ng’abagamba bamenyemenye ebikajjo byabwe ate nga tebabirya. Kino kiranga omuntu omuzibu an’atera okukuwakulako oluyombo.
ALICE Muwaza e Ntebe yaloose ng’ali ne kitaawe eyafa ng’amulambuzza essomero mwe yasomera pulayimale nga bwa mugamba nti essomero lyamwe olaba bwe lyayononeka laba ne gaati tekukyali langi. Kitegeeza okwononeka kw’ensi abamu kwe bayita enkukulakulana so nga mu mazima ebiriwo biranga kuzikirira.

ERA yaloose ng’ali mu kyalo ng’alima biggya. Bwe yamazze okulima, yagenze okulaba nga buli ddalo kuzeeko emezza enjoyote obulungi naye nga zanjawulo. Okujjako edaalo lya jaaja we gwe bamubulamu. Kitegeeza obwetaavu bw’abagenzi bwe balina gyemuli kubanga si bonna nti bali obulungi nga n’abamu bakukkuluma.

ANNITA e Namiryango yaloota ng’agalamidde ku buliri ne muganzi we, kitaawe n’ajja n’abagobera ebweru. Kino ekirooto kitegeeza nga bw’osaana okwongera okussa omulaka ku bigambo ebikubuulirwa by’olabika okugeyaalirira.

ARON Kiguli ow’e Kirolo yaloota ng’ali ku lusozi nga kuliko amagongolo amangi nga buli waza amaaso ng’agalaba. Kitegeeza nga omu ku bantu bookolagana nabo bwakubuzabuza mu bintu by’akola ng’ayagala akukulemese.
AGNES ow’e Hoima yaloota omusajja gwatamanyi ng’azze ewaabwe okumwanjula. Kitegeeza nga bw’osaana okomye omuze ogw’okunyomerera ebintu omwagalwa wo byatera okukugamba.

AIDAH ow’omu Kikajjo atera okuloota nga yerigomba ne kitaawe. Ekirooto kino kitegeeza nga omu ku b’oluganda lwo bwakulina mu endowooza enkyamu buli wakulabako era wewale nnyo okwesembereza omuntu ow’engeri eyo.

ROSE e Mukono yaloota ng’embwa erumaluma engato ye. Kino kitegeeza nga bwoyolekedde omuntu annaakuwakula ko olutalo oba oluyombo nga luno lujja kubatuusa wala.
N.F ow’e Bwaise yaloota ng’atambulira mu biryo ebikyaali ebito. Bw’oba ng’oli mukazi mufumbo, kitegeeza kwaza mmere, Bw’oba ng’oli muwala kitegeeza kufumbirwa. Bw’oba ng’oli musajja kitegeeza kukyaza mugenyi anakuleka esseke.

KIKOMEKO ow’e Namasuba yaloota nga nnyina agudde. Ekirooto kino kitegeeza omulwadde omuyi mu bantu bebukojja bwo.

MUZEEYI ow’e Mbarara yaloota nnyina eyafa ng’atudde mu ddiro ng’amuwa omubisi gw’enjuki. Kino kitegeeza ng’omuntu gw’oludde nga omwegwanyiza bw’onootera okumufuna.
KABUYE S ow’e Makerere aloota nnyo ng’alonda empafu. Kitegeeza obutakkanya obunnateera okubawo mu bufumbo bwo oba wakati wo n’omwagalwa wo.

N.Z ow’e Mbarara aloota nnyo jjajja we eyafa ng’amugulidde emmotoka ey’ekika kya Hummer. Ekirooto kino kitegeeza okukyala ku bugenyi obw’obadde tusuubira oba okukyaza omugenyi gw’obadde tosuubira.

NAKIMULI ow’e Nateete yaloota ng’ayambaza omwana we akagoye akayulifuyulifu. Kitegeeza nga bwe waliwo omuntu gw’olinako obuvunaanyizibwa alina ekyetaago ky’osana okutunuulamu.

Weereza obubaka ku ssimu yo bw’oti: KIROOTO osindike ku 8338 bw’oba ku Zain, UTL ne Warid. Oba kuba 0414337335

okuloota ng’olya ffene giba mikisa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu