TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okuloota ng’ente ekutomera kaba kabenje

Okuloota ng’ente ekutomera kaba kabenje

Added 24th August 2009

Kitegeeza nga bw’onootera okuwulira ebifa kw’omu ku bantu b’omanyi naye ng’obadde oludde okumuwuliza oba okumulaba.

ERA aloota nnyo ng’ali mu kkomera.

Kitegeeza okukyalira omuntu wo ali mu nkomyo oba omu ku mikwano gyo anaatera okugwa mu matigga.

YALOOSE n

Kitegeeza nga bw’onootera okuwulira ebifa kw’omu ku bantu b’omanyi naye ng’obadde oludde okumuwuliza oba okumulaba.

ERA aloota nnyo ng’ali mu kkomera.

Kitegeeza okukyalira omuntu wo ali mu nkomyo oba omu ku mikwano gyo anaatera okugwa mu matigga.

YALOOSE ng’avuga mmotoka. Kitegeeza ekintu ekirungi eky’ebbeeyi kye weegwanyiza, ky’otosaana kupapirako kubanga ekiseera kyakyo tekinnatuuka.

SEKITTO e Kampala yaloose ng’agenze ew’omusawo w’ekinnansi kyokka nga waliyo abantu bangi. Yamugaanyi okuyingira naye omusawo bwe yalabye ng’azze n’emmotoka n’asanyuka nnyo. Ekirooto kino kikulabula okwegendereza omuntu gw’obadde oyagala okukolagana naye kubanga muntu mukyamu omulimba awedde emirimu.

ROSE ow’e Kireka aloota nnyo ng’ali mu bantu bangi  ng’ali bukunya. Ekirooto kino kiba kiranga okuddamu okufuna ekizibu nga kye wafunako olulala. Fuba okwekuumira awaka, ebiseera byo eby’eddembe obimale n’abantu bo.

NAMUDDU ow’e Muyenga yaloose ng’omusajja gw’atategedde amukubye essasi mu kugulu. Ekirooto kino kikuwa amagezi okwongera okusinza Katonda wo akuggyirewo abalabe abaluubirira okwekiika mu kkubo lyo bakubuze emirembe.

NAKIMBUGWE ow’omu Nyendo - Masaka aloota nnyo amaseffuliya nga gaterekeddwa ku muti wabula ng’embuyaga ne bw’egafuuwa tegagwa. Wansi w’omuti wabeerawo abantu nga bangi era nga bali ku mukolo. Kitegeeza nti waliwo omukolo ogw’amanyi ogumalidde abantu ebiseera nga bategeka naye   guyinza okugootaana ne gutabeerawo.

SAM  Muwanga e Katwe yaloose ng’agenze mu kyalo gye bamuzaala. Bwe yazuukuuse ku makya n’asanga enkoko mu luggya ng’emaamira naye teyagikubye wadde okugigobawo. Kikujjukiza okwongera okufaayo ennyo ku bazadde bo kubanga nabo essuubi lyabwe liri mu ggwe.

MAAMA Boy e Mbarara yaloota ng’alaba omwana we omulenzi alina bayogera nabo ku ssimu kyokka nga kitaawe yeekwese ku nsonda ng’amuwuliriza. Olwamaliriza n’amugalamiza n’amukuba. Kikulabula okukyusa mu ngeri gy’oyisaamu omwana wo oba abaana bo kubanga eyinza okuttattana ebiseera bye eby’omu maaso.

ERA bba atera okugenda safaali e Nairobi kyokka yaloose ng’aleese omukazi omulala mu kisenge ekibaliraanye nga baggyeemu engoye zonna bagenda kunaaba. Yayagadde okugendayo kyokka ekkubo ne limubula naye ng’abalaba. Kino kiba kitegeeza ekintu oba embeera gy’olowoolezaamu omwagalwa wo, sso nga ky’omulowooleza si bwe kiri. Era ng’omala biseera byo.

HADIJAH Namutebi ow’e Namasuba yaloose nga muganzi we gwe baayawukana naye amwegayirira badding’ane ng’ate yafumbirwa dda omusajja omulala. Ekirooto kino kikulabula okwegendereza omukazi akulinnya akagere ng’aluubirira okukuggya mu kkubo eggolokofu ly’otambuliramu akuzze mu kyamu ly’alimu.

ERA yaloose ng’ali  mu nsonga z’abakyala kyokka ng’avaamu bitole byo omusaayi. Yabikutte n’abyetegereza nga bw’agamba nti, bino si bye bing’aanyi okuzaala? Talina mwana kyokka mufumbo. Kitegeeza waliwo akasonga akatono ennyo k’okyanyomerera, sso nga ke kakyakusibye okufuna omwana.

FAROUK ow’e Kyengera, yaloose empologoma nga nnyingi wabula tezaamulumbye wadde yagezezzaako okuziboggolera. Kino kiba kikulabula okukomya okukontana ne banno, n’okululunkanira ebintu, kikuyambe okuwona emitawaana egiri mu maaso gy’olaga.

SWAIB T. ow’e Zzana aloota nnyo ng’ente emutomera. Ekirooto kino kiba kiranga akabenje akamanyi akagenda okubawo ku muntu wo oba omu ku mikwano gyo singa baba tebeegendereza mu ntambula zaabwe.

ba kikulabula okwegendereza ennyo mu bintu bw’okola kubanga ANNET Namusoke ow’e Kajjansi aloota nnyo ng’agwa mu kinnya kyokka takigwiramu ddala. Kikulabula okuyimiriza mu bwangu ky’obadde oluubirira okukola oba okubuulira omwagalwa wo kubanga yamaze dda okukufunamu ekyekango.

Okuloota ng’ente ekutomera kaba kabenje

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spoon X Lounge bataddewo amaduuka

Corona anyize ab'ebbaala ne...

Eyo y'embeera ekirwadde kya corona we kituusizza bannannyini bifo ebisanyukirwamu naddala ebbaala. Oluvannyuma...

Omukazi yabuuka n'eyavaako ...

ABAKAZI abasinga tebalina bugumiikiriza! Maama w’abaana bange bwe bansiba mu kkomera e Luzira nagenda okuvaayo...

Pogba owa ManU (ku kkono) ne Zaha owa Palace baddamu leero okusisinkana.

ManU tetidde Crystal Palace

LEERO (lwamukaaga) zaakudda okunywa batabani ba Ole Gunnar Solskjaer (aba ManU) bwe banaaba balwana okukakasa ensi...

Bashir Mutanda

Mbarara etutte Bashir Mutanda

MBARARA City FC eraze amaanyi bw’esitukidde mu abadde omuteebi wa SC Villa, Bashir Mutanda n’assa omukono ku ndagaano...

Kizza (ku ddyo) ng’akwasa Mayeku omujoozi gwa URA.

Tukooye ennyonta y'ebikopo ...

SSENTEBE wa URA FC, James Kizza agambye nti ennyonta y’ebikopo ebasusseeko nga sizoni eno baagala basitukire mu...