TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okuloota ng’otambula bukunya buba bubenje

Okuloota ng’otambula bukunya buba bubenje

Added 28th July 2009

DOREEN Mutesi e Namasuba aloota nnyo ng’atambula ng’ali bwereere. Ekirooto kino kiba kiranga bubenje obw’entiisa omunaafiira abantu abangi oba okwonoonekera ebintu ebingi, eby’omuwendo.

ERA atera okuloota ng’avaamu omusaayi mu bitundu by’ekyama. Ekirooto kino kitegeeza olubut

DOREEN Mutesi e Namasuba aloota nnyo ng’atambula ng’ali bwereere. Ekirooto kino kiba kiranga bubenje obw’entiisa omunaafiira abantu abangi oba okwonoonekera ebintu ebingi, eby’omuwendo.

ERA atera okuloota ng’avaamu omusaayi mu bitundu by’ekyama. Ekirooto kino kitegeeza olubuto olutannamanyika oba olwabulankana mu ngeri gy’otaategeera era gy’otojja kutegeerera ddala.
ROBINSON Kawere e Mutundwe yaloose omukyala ng’amukolera eddagala n’agwa eddalu. Kiba kikulabula okwerinda abantu abakuli obukiika kubanga bandikukola ekikyamu naddala mu by’okulya n’okunywa.

WALUGEMBE e Kyotera aloota nnyo ng’alaba mukazi we ng’ali n’omusajja omulala. Kitegeeza ekintu ky’osuubira oba ky’olowoolereza, sso nga tekiri oba tekiibe nga bw’olowooza.

IRENE e Kisoga yaloose alwana n’abasajja, omu n’amwetikka oluvannyuma n’amukuba n’amuwangula. Kitegeeza buwanguzi na buzira mu nsonga z’oludde ng’olowoozaako.
NABUKENYA e Mityana  yaloose akwata enseenene naye nga bazikwatira mu mazzi. Kiranga enkyukakyuka ez’omuggundu mu bintu by’okola ate mu ngeri eyewuunyisa. Teweerabira okubbulukuka. 

GODFREY e Jinja yaloose abala ssente ez’ebinusu naye nga teziwera. Kikulabula obutamala geereega ku bintu by’olowoolezaamu nga tonnaweza ssente zeetaagisa kubikolako. Genda mu maaso n’entegeka zo nga bw’oyongera n’okukung’aanya ssente. 

YASIN aloota nnyo ng’ali mu kkomera. Kiranga kubeera bulungi mu mbeera yonna ebeerawo ekiseera kyonna.
ROBINA . N. ow’e  Makindye yaloose nga waliwo omukazi asitudde omwana naye ng’ali wala naye omwana n’amufukira naye nga maama w’omwana mukambwe nnyo bwe yamaze omukazi n’akwata omwana ku mukono ne bagenda nga talina kyamugambye. Kino kiba kitegeeza nga bw’okwataganyizza ebintu ebingi omulundi ogumu, ekiyinza okuzing’amya ebiruubirirwa byo. Ebimu oba olina okubiyimiriza.

ERA atera okuloota ng’abeekika kye baagala bagende mu bintu eby’ekinnansi wabula ye n’akoma ku mulyango n’avaayo. Ekirooto kino kiba  kikuzzaamu amaanyi okunywerera ku nzikiriza yo n’obutamala gawugulwawugulwa kukuyingiza mu by’otasobola.
T. K e Kampala yaloota ng’agenze ku dduuka okugula omugaati naye mukwano gwe nagumugulira. Yali asala ekkubo emmotoka n’emutomera kyokka ng’emmotoka eyo yali muganzi we. Kikulabula okussa mu musana ebintu by’oludde ng’obikisa mikwano gyo. Kino kikole mu bwangu nga bo tebannabyezuulira.

ERA yaloose ng’ali mmanju kyokka bwe yazze ku kkubo omulalu n’akwata embizzi ento n’agirya. Yawulidde ng’ayagala kusesema. Kitegeeza entabukatabuka n’omwagalwa wo oba n’omu ku mikwano gyo.

GEOFREY Mujuni e Nagulu yaloota bali mu kyalo ne muganda we eyafa. Kitegeeza okusisinkana n’omu ku baali mikwano gya mugandawo {omugenzi}.

ERA yaloota nga basimye ekinnya ky’amabidde aganaatera okwengera. Kitegeeza ekintu ekirungi ky’oyagala okussa mu nkola mu bwangu sso nga ekiseera kyakyo tekinnatuuka. Weewale okupapirira. 

SHAMIM e Kasubi yaloose omusota nga guyingidde mu nnyumba ya muganda we ne bagukuba. Kitegeeza omuntu omukyamu eyali akuzinze, Katonda n’akumuwonya mu ngeri gy’otomanya.

Okuloota ng’otambula bukunya buba bubenje

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...