TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okuloota omusota ogw’emitwe ebiri kuba kulabulwa

Okuloota omusota ogw’emitwe ebiri kuba kulabulwa

Added 7th July 2009

Kitegeeza okusonyiwagana n’okudding’ana ne mukwano gwo bwe mwali mukyawaganye.

NANTONGO e Nansana  yaloose alaba omusota ne bagukuba ne gufa oluvannyuma n’aloota nga bagenze ne muganzi we mu loogi n’amuviira ate oluvannyuma n’amulaba ne batuula bombi ku lubalaza. Kikulabula oku

Kitegeeza okusonyiwagana n’okudding’ana ne mukwano gwo bwe mwali mukyawaganye.

NANTONGO e Nansana  yaloose alaba omusota ne bagukuba ne gufa oluvannyuma n’aloota nga bagenze ne muganzi we mu loogi n’amuviira ate oluvannyuma n’amulaba ne batuula bombi ku lubalaza. Kikulabula okunywerera ku nteekateka zo kubanga bw’onoosagaasagana, wandigwa mu mitawaana.

NSUBUGA e Masaka, yaloose ng’alaba omuwala gwe yakyawa ng’ali ne muganzi we nga banyumya bulungi. Kino kikulabula okwewala okudda mu mivuyo gye walimu, si kulwa nga ku luno obulwa omuntu akujuna.

HENRY Sekabuza e Ntebe, atera okuloota ng’akuba omwana we. Kikulabula okukola ku kintu ekikulu ky’obuusa amaaso mu kiseera kino ng’omuzadde oba omukulembeze.

ALLAN e Busega yaloota ng’abantu bamugoba ne bamukuba amasasi oluvannyuma ne yeekweka.  Kikujjukiza okumanya nti obulamu bubwo era nga tosaana kuleka bantu balala kubuzannyirako nga bwe kiri ennaku zino.

ERA yaloose nga bali mu kyalo bookya ennyama y’ente n’enkoko nga bigattiddwa wamu wabula ng’ennyama ennyogoga  kyokka ng’eri ku kyoto. Kikulabula ku mukolo  gwe wandyewaze oleme kwonoona linnya lyo. 
STELLA Nawuggu ow’e Kinoni Masaka yaloose alwana nnyo amannyo ge ne gavaamu. Ekirooto kino kitegeeza kufiirwa omu ku b’olubu lwo ow’emyaka emingi oba omuntu omukadde abadde omumanyifu mu ggwanga.

RONALD Magezi e Kasubi, atera okuloota ng’anyumya akaboozi ne bannyina. Kiranga ebikolwa eby’obugwenyufu mu famire yammwe oba omu ku mikwano gyo abiyingiridde.
ERA olulala yaloota ng’asinda omukwano n’omukazi gwe yayawukana naye. Ekirooto kino kitegeeza bisiraani ebinaakuzza mu miroboli gye walimu edda mu kifo ky’okugenda mu maaso.

PETER Sekkadde ow’e Kampala, yaloose omusota ogw’emitwe ebiri. Kino ekirooto kibeera kikulabula okubeera omwegendereza mu bintu by’okola kubanga waliwo omuntu omukyamu agezaako okukuwabya.
JOYCE Nalukwago ow’e Gayaza atera okuloota ng’alinnya ensozi. Kino ekirooto kikuzzaamu amaanyi obutaterebuka n’ova ku ntegeka z’oliko mu by’enfuna kubanga ojja kuwangula singa oteekamu obugumiikiriza.

YASIN ow’e Gayaza aloota nnyo ng’atambulira ku mazzi. Ekirooto kino kibeera  kitegeeza nga bw’onootera okutuuka kw’ekyo ky’oluubirira, naye toweera nga tonnakituukirako ddala.
ERA yaloota ng’atambulira mu mazzi nga goonya amugoba. Kitegeeza nga bw’oludde okutuuka ku ky’oluubirira olw’omuntu omubi gw’opepeya naye. 

BUKENYA e Juba, atera okufuna ekirooto ng’agudde mu nnyanja oba ng’emmotoka etambulira mu bbanga.  Kitegeeza akantu k’oyita akatono sso nga kazitowa, k’ogaanyi okukolako. Kirungi weewalirize okakoleko nga bukyali.

JANE e Masaka yaloota ng’afumbye emmere n’ekona. Kikulabula okutereeza ak’obukazi akakubulamu okubeera ng’abakazi abalabufu bwe babeera.

ONO w’e Nakasongola alina abaana basatu naye atera okuloota ababiri abasooka nga bagudde mu kinnya. Kitegeeza ekintu ekituufu ky’abuusa amaaso mu ndabirira n’enkuza y’abaanabo.

ANNET ow’e Masaka yaloose ng’azadde omwana n’ayogererawo, n’atambulirawo. Kino kitegeeza  okufuna ekintu ky’otetaaga okuva ewa mukwano gwo kubanga naawe okirina.

NAMIREMBE e Bukomansimbi yaloose nga bamutundulamu envunza nnyingi. Kitegeeza ekizibu ky’olina ky’osaana okutereeza. Bwe wabeerawo omuntu akuwabula muwulirize oleme kwejjusa.

MILLY Nakalema e Gangu atera okuloota ng’akwata mu bubi. Kitegeeza obugagga obukyakulemye okufuna sso nga buli mu maaso go naye nga tobulaba.  Â

Okuloota omusota ogw’emitwe ebiri kuba kulabulwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu