TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okuloota engo ng'ekugoba kitegeeza ki?

Okuloota engo ng'ekugoba kitegeeza ki?

Added 25th April 2012

Kamadi e Bwaise yaloose ng’akyadde ewa mukwano gwe n’amugabula ennyama embisi. Kitegeeza nga bwe waliwo mukwano gwo bwe munaatera okutabuka.

Kamadi e Bwaise yaloose ng’akyadde ewa mukwano gwe n’amugabula ennyama embisi. Kitegeeza nga bwe waliwo mukwano gwo bwe munaatera okutabuka.

             ********************
Nakanwagi e Kinaawa yaloose ng’ekkovu limutambulira ku kisambi naye nga waliwo mukwano gwe eyalimulaze nga ye tannaliraba. Kitegeeza okukyaza omugenyi gw’otaalyagadde kukyaza.

        ********************

Nakirijja e Mazinga yaloose ng’afuluma mu takisi era olwatuuse wabweru, laddu n’emukuba kyokka teyafudde. Kitegeeza nga bw’ogenda okutambula olugendo lw’obadde teweetegekedde.

          *******************

Mustafa e Kampala yaloose ng’engo emugoba. yabadde adduka, omulalu n’amukwata omukono n’amubuuza oba alina omukazi, n’agamba nti talina. Awo mu kutya okungi n’asisimuka. Kikulabula ng’akasiriikiriro k’obaddemu ku nsonga z’ebyobuwangwa bwe kayinza okukutuusa awazibu okuggyako ng’obikolako mu bwangu.

         *********************

Florence e Namuwongo yaloose ng’azibye amaaso kyokka ng’abadde yaakava mu ddwaaliro okujjanjaba muganda we abadde omulwadde w’amaaso. Kitegeeza bw’onootera okusimattuka ebizibu ebirudde nga bikutawaanya.

        ********************

Ono yaloose ng’akuula obutiko. Kiranga kulwala oba kufiirwa omu ku bantu b’olulyo lwo.

         ******************

Pantaleo e Nabuyuga yaloose ng’akwata enseenene ennyingi ennyo. Kiranga omujjuzo gw’ebyokulya ogunaacamula abantu abangi kubanga bonna bagwesunga.

        **********************

Sarah e Lungujja yaloose ng’omusajja gwe yayawukana naye amukuba amasasi mu kifuba. Kikuwa amagezi obutadda mu bintu bye wakolako edda ne bikulema. Tandika ebintu ebirala by’osobola.

        ********************

Era atera nnyo okuloota omusajja oyo nga batudde wansi banyumya mu mirembe. Kikulabula akabi akali mu kusiba obusungu. Weerabire ebyayita.

         *********************

Omukyala omu yaloose ng’alabye ebintu ebimutiisa nga biringa ttimba, amakonkome n’eminya. Kitegeeza ng’ebirowoozo ebingi by’olina mu kiseera kino bwe biyinza okukuleetera ebizibu. Fuba okulaba nga weesonyiwa ebikuleetera okulowooza ennyo.

       ********************

Bwogi e Mwera ku lw’e Hoima yaloose nga bali wamu ne mukyala we nga beera enju yaabwe yonna.
Kikuwa amagezi okwongera okuteekateeka obulungi amaka go kuba waliwo bingi ebisaana okutereera. Osobola okwebuuza ku bakulu bakuyambe ku ky’okukola.

       **********************

Nabasumba e Namagunga yaloose nga beeweeweeta ne muganzi we kyokka ekiseera ky’okwegatta bwe kyatuuse ne wabaawo ebibabuzaabuza ne babivaako.
Kikulabula okwesonyiwa n’okwerabira omukwano omupya gw’obadde oyagala okuyingiramu kubanga tojja kugusobola.
Ssewambwa e Matugga yaloose ng’ali mu mukwano n’omuwala gw’aludde nga yeegwanyiza. Kitegeeza bw’osaanye okugenda mu maaso n’enteekateeka z’oludde ng’olowoozaako kubanga zirimu ebibala.

        **********************

Ono kitaawe yafa naye  yaloose ng’afukamidde ku malaalo ge ng’asaba. Kijjukiza abaana, abazzukulu b’omu nju y’omugenzi oyo okukolawo omukolo gw’ekijjukizo nga tannanyiiga kuba abalabudde mangu nga waliwo ensobi ekolebwa mu kiseera kino.               

     *************************

Kibuuka e Kasenge yaloose ng’aguze eddagala ly’ekinnansi ng’agamba agenda kwongera ku maanyi ga kisajja. Kitegeeza omu ku baganda bo oba mikwano gyo ayolekedde ekizibu eky’amaanyi singa takomya empisa y’okweroboza mu ddagala  buli erimuweebwa. alikozese n’omwoyo gumu lwajja okulifunamu eky’omugaso.

      ***********************

Aidah e Kayunga yaloose ng’alya ennyama y’embizzi. Kikuwa ebbeetu okwongera okulya buli ky’oyagala ove ku bigambo by’abantu kuba naawe tobayingirira. Kola bibyo ebikugasa.

      **********************

Pascal Birimuye e Nateete yaloose nga waliwo omukyala mukwano gwe eyafudde kyokka baabadde baakamala okumugolola ate n’azuukira. Kiranga ebintu ebinaatera okugwawo mu nsi mu ngeri ezeewuunyisa era ng’ebintu ebyo by’ebinaakwekula ebimu ebyali ebikusike. Osaanye obeere mwegendereza mu buli kimu si kulwa ng’ogwa mu buzibu naddala mu kiseera kino kuba abalabe olina bangi.

*********************

Sula e Hoima yaloose nga waliwo omusajja amufumita ekiso mu kifuba. Kitegeeza waliwo omuzirakisa anaatera okubaako obuyambi bw’akuwa mu kaweefube gw’olimu ennaku zino.
Ono yaloose nga bba bamutikkidde diguli mu mirimu gy’akola naye ng’abantu bamutonera kyetuttumula. Kitegeeza waliwo ebintu ebitakugendera nga bw’obadde olowooza naye toddirira kuba toli bubi mu bintu by’olinawo.

      *********************
Wasswa e Ntinda yaloose ng’agudde ku kabenje.
Kitegeeza nga bwe wanaatera okubaawo akabenje ddekabusa akanaatugumbula abantu abawerako.

         ********************

S.B e Nansana yaloose nga waliwo omuwala amuwa ffene. Kitegeeza omukisa gw’okufuna ekintu ekinaakusanyusa ennyo ne mikwano.

Okuloota engo ng’ekugoba kitegeeza ki?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu