TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okuloota ng'okwata vidiyo kirabula butalulunkanira mirimu

Okuloota ng'okwata vidiyo kirabula butalulunkanira mirimu

Added 26th June 2013

JAMES e Kireka yaloota ng’omukolo gw’akaboozi ne muganzi we baguvuddeko ne badda mu birala

 

 

 

JAMES e Kireka yaloota ng’omukolo gw’akaboozi ne muganzi we baguvuddeko ne badda mu birala, ate yagenda okuzza amaaso n’alaba obuwale bwa munne obwali obujama ennyo n’abukasuka eri.

Kino ekirooto kibi nnyo.Kitegeeza nga bwe waliwo ekirwadde ky’onootera okusiiga oba okusiigibwa. Kendeeza ku misinde
************************

KEZIA e Kasangati yaloota ng’ali mu lutalo.
Kitegeeza kuyomba, n’obutakkaanya ne banno mu kitundu mw’oli.
***************************

AMIN ow’e Kibuli yaloota nga kitaawe afudde.
Kitegeeza kubika, kubikirwa oba okuziikirako mukwano gwo.
***************************

ATE Kevia e Masaka yaloota ng’asima lumonde ne banne.
Kitegeeza bbula lya mmere oba okweyongera kw’enjala mu maka go.
***************************

MUKASA K. ow’omu Nyendo- Masaka yaloota ng’anyumya n’omuntu we eyafa edda.
Kitegeeza akaleega bikya mu bantu b’olubu lwo.
************************

FLORENCE e Namuwongo yaloota ng’agenze ku kwanjula kwa mukwano gwe. Yagenda okutuukayo ate ng’okwanjula kukwe.
Kitegeeza buwanguzi mu mukwano ate no bw’obeera mufumbo kiyitirira.
****************************

MAUREEN ow’e Mulago yaloota omusajja gw’amanyi obulungi ng’amuzaddemu omwana so nga tamwagalangako wadde okumwegwanyiza.

Kitegeeza nti omusajja oyo akwegwanyiza naye ng’atya okukwatulira. Bw’aba ayagalika, kyusa mu ntunulayo n’enjogera yo. Kyokka bw’oba mufumbo, sibira w’osibidde.

****************************

FATUMA e Makindye yaloota nnyina eyafa edda ng’akomyewo ng’amulagira okunogera abalwadde eddagala.
Kitegeeza nga bw’olina ensonga oba ekintu nnyoko kye yakuyigiriza, bwe yafa n’okivaako ne weeyisa nga bw’olaba. Weddeko kubanga ayimye magombe n’akujjukiza.
***************************

YVONNE ow’oku Cape Complex yaloota ng’anaaba, obuuma bwe obw’omu matu ne bugwa mu mazzi. Bwe yali abuggyamu n’alaba omusota omunene.
Kitegeeza nga ggwe oba omu ku mukwano gwo bwe mugenze ewala mu kwekolako, ekintu ekiyinza okwonoona obulamu bwammwe nga mukaddiye.
***************************

MUJABI ow’oku kizinga Nalubaale yaloota akwata ebifaananyi bya vidiyo.
Kitegeeza nga bw’olina amaddu g’okukola ku buli mulimu. Kirungi osalewo gumu emirala ogyesonyiwe.
********************************

WILLIAM G.K yaloota ng’omusezi amugoba.
Kitegeeza omuliro omungi ogw’entiisa oba akabenje k’omuliro.
**************************

HAKIM S. yaloota ng’alaba ettaala z’amasannyalaze nga zaakira mu mazzi.

Kitegeeza nga bw’onootera okuwulira oba okulaba oba okukola ekintu ky’obadde tosuubira.
***************************

MUSA e Najjanankumbi yaloota omuntu eyali amugoba nga bw’amukuba kibooko n’ensambaggere.
Kitegeeza kuwakula ntalo oba nnyombo. Oyinza okulumbagana omuntu oba okulumbibwa ekiseera kyonna.
*****************
**********

Okuloota ng’okwata vidiyo kirabula butalulunkanira mirimu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...