TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okuloota entuumu y'obugoye bw'abaana kiraga ssuubi lya kufuna

Okuloota entuumu y'obugoye bw'abaana kiraga ssuubi lya kufuna

Added 7th August 2013

ONO atera okuloota ng’ayimiridde mu mazzi agaddugala oba nga gali mu nnyumba ng’atudde ku kitanda agalinnyeemu.




ONO atera okuloota ng’ayimiridde mu mazzi agaddugala oba nga gali mu nnyumba ng’atudde ku kitanda agalinnyeemu.

Kitegeeza ebirowoozo ebingi by’olina ebiyinza okukutaataaganya n’okukubuzaako ekituufu ky’okola mu bulamu bwo.
************************

WALIWO eyaloota nnyina eyafa ng’azuukidde n’amwebaza olw’okumulabirira era
n’amusuubiza okumufumbirayo enkoko.

Yamugamba anaabe amuwerekereko, wabula yabadde agenda omusajja n’atandika okusiimuula n’ajjuzaawo ebyovu, n’amulagira asooke alindeko.

Kitegeeza nga bw’olina ensonga oba ekintu nnyoko kye yakuyigiriza, bwe yafa n’okivaako ne weeyisa nga bw’olaba. Weddeko kubanga asinzidde e magombe n’akujjukiza.
***************************

KIMBOWA Mutebi e Mukono yaloose akutte omuwala ku bbeere.
Kikulabula okufuga amaddu g’olina, si kulwa nga gakujjuza ebitannaggya n’oswala n’oswaluka.
***************************

GS e Bweyogerere yaloota ng’alaba entuumu y’obugoye bw’abaana.

Kitegeeza ssuubi lya kufuna ky’oludde ng’otawaanira naddala ku ludda lw’omukwano omupya.
***************************

TIM e Kireka yaloota ng’atudde mu nnimiro y’ebimuli ennungi omwali entebe z’amakooko g’emiti entegeke obulungi.
Kitegeeza okussibwawo kw’ekifo ekisanyukirwamu oba eky’obulambuzi mu kibuga.
*************************

SAMALIE e Bulagala yaloota ng’alya emiyembe, naye nga we bagiriira wajjudde kazambi.
Kiranga endwadde ezitamanyiddwa ezinaatera okubalukawo mu nsi nga ziva ku buggulu mu bantu.
************************

BBALAZA e Mweya yaloota ng’asitudde nnawolovu.
Kikulabula okuva ku musajja gwe weesibyeko so nga wa bulabe gyoli okulabira ku ngeri gye yeekyusaamu mu bigambo by’akubuulira.
***************************
KIBERU e Lukaya yaloota ng’atambulira mu mazzi agaali gamukoma mu bulago.
Kitegeeza obuwanguzi obukulindiridde singa toddirize mukono mu mirimu gy’okola.
**********************************

OMULONGO Kato e Bbira yaloota nga waliwo omuntu eyali amugoba n’abuuka sseng’enge n’amubulako.
Kitegeeza ekintu ekizibu ekyekuusa ku by’enfuna ekikutawaanya ky’osaana weesonyiwe mu bwangu.
****************************

GIDEON e Matugga yaloota nga yeetabye mu kusaala ne banne so nga si Musiraamu.
Kitegeeza nga bw’ojja okweyongera okuganja mu banno kubanga by’okola bibasanyusa.
******************************

KALIMU e Kiteza – Lugazi yaloota ng’ali mu katale k’omubuulo.
Kikuwa amagezi okusengejja mu bintu by’okola kubanga lw’onoozuula ekituufu ky’osaana okwemalirako.
******************************
KB e Bukoto atera okuloota ng’atta abantu oba ebintuntu eby’entiisa.
Kitegeeza omuntu w’oluse lwo ow’obusungu obw’ettumbiizi gwe musaana okuyamba nga tebunnamuzaalira kabasa.
*********************
ZAITUNI S e Kabowa yaloota nga baganda be babiri bafiiridde mu kabenje.
Kiranga okweyongera kw’omuwendo gw’abantu abafiira mu bubenje.
***************************

LUTALO e Kyengera yaloota ng’ali mu kaboozi ne muganze we gw’atakyalaba.
Kino ekirooto kitegeeza nga gye yabulira bwe byamusalirayo nga kati asala magezi kukuddira, kirungi obe mwegendereza nnyo.
*****************************

MUSA mu Kiganda- Mubende yaloota afudde.
Bw’oba nga wali mulamu kitegeeza mirembe naye bw’oba wali mulwadde kitegeeza kussuuka.
*******************************

NAKAMYA mu Kitooro e Ntebe yaloota ng’alaba abakazi babiri abali embuto naye nga balabika bubi nnyo.
Kino ekirooto kitegeeza nga mu bantu b’oluse lwo bweriyo omukazi omulwadde omuyi
eyeetaaga okuyambibwa amangu.
*******************************

DEO MALI e Amuria- Teso yaloota ng’aggaliddwa mu kkomera.
Kitegeeza mirembe n’emikisa gyoli n’eri abantu b’obeera nabo.
*****************************
SAMSON M e Bbira yaloota ng’atutte muganzi we mu wooteeri ey’ebbeeyi. Bwe baalya, omuwala n’asuula essowaani wansi n’eyatika.
Kikulabula okuva mu kkubo ebbi ly’okutte ku ludda lw’abakazi b’oganza.
****************************

OLUBO e Lira yaloota ng’atambulira mu lusenyi oluwanvu ennyo.

Kitegeeza ng’ebintu by’okola bwe binaakukaluubiriramu n’amaanyi agabikola gakubule singa opapirira.
***************************
KAPEKU B. ow’e Kagologolo yaloota ng’atudde ku kabangali eyali evugibwa ku misinde egya yiriyiri. Kiranga omukisa gw’okufuna ekintu ky’otokoleredde.
******************************
SULA ow’e Mpereerwe yaloota nga yeebase mu buliri obwale obulungi naye nga yeezizise kiti. Kikulabula okunywerera w’oyimiridde kubanga ebigambo by’aboogezi biyinza
okukuterebula.

******************************

MADALENA ow’e Mika Busunju yaloota ng’aluka ekisero so nga tamanyi na bwekirukibwa.

Kino ekirooto kitegeeza ng’omulimu gw’oteekateeka okukola bwe gunaakugendera obulungi wabulewo n’akutaataaganya okukuggya ku mulamwa.
*******************************
SSEMUJU e Kusibi yaloota ng’aziyidde, omukka abaka mubake.
Kino ekirooto kikulabula obutattukiza mukwano ogwafa nga bw’obadde olowooza oleme kukola nsobi.

 

Okuloota entuumu y’obugoye bw’abaana kiraga ssuubi lya kufuna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...