TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okuloota ng'olaba mikwano gyo balwana kiraga nkaayana

Okuloota ng'olaba mikwano gyo balwana kiraga nkaayana

Added 9th April 2014

TT e Kireka yaloota ng’atunuulisse mikwano gye abaali balwana.



JN mu Kalagi yaloota ng’asanze muganzi we ng’apepeya n’omukazi omulala mu kibuga ky’e Mukono. Kikulabula okwerinda omuntu atali mwesigwa gw’okolagana naye ennaku zino.

******************************
OMUWALA w’essomero AN yaloota nga muganzi we azadde abalongo mu muwala omulala. Kitegeeza obuzibu obukwolekedde obuyinza okukutuusa ku bizibu by’otolaba kati.

********************************
YUDA e Kawempe yaloota ng’omuwala eyaliko muganzi we afudde. Kitegeeza ng’ebintu ebikutawaanya ennaku zino bwe bitajja kukusobozesa kutuuka ku biruubirirwa byo. Kyandibadde kyamagezi obiviireko ddala.

***************************
TT e Kireka yaloota ng’atunuulisse mikwano gye abaali balwana.
Kitegeeza enkaayana ezinaatera okubalukawo wakati wa mikwano gyo naye ng’ebibatabudde temuli nsa. Byesonyiwe tobyeyingizaamu kubanga tebikukwatako.

*****************************
NOAH e Seeta yaloota nga pulezidenti Kagame aweese pulezidenti Museveni ku kagaali maanyigakifuba. Kitegeeza okusisinkana ne mukwano gwo gwe muludde nga temulima kambugu. Era ng’okusisinkana okwo kunazza buggya enkolagana yammwe ey’edda.

******************************
NALULE e Buloba yaloota ng’asoma ebitabo bingi naye nga by’asoma tebitegeera bulungi. Kitegeeza ekintu ekipya omu ku mikwano gyo ky’anaatera okufuna naye nga toyagala mikwano gye mukitegeere.

**************************
MUBIRU ow’e Kakoge yaloota nnyina eyafa ng’amugudde mu kifuba nga bw’amulaamiriza nti buli ky’okola kikole n’amagezi. Kikuwa amagezi okukomya okwerowoozaako wekka kubanga abamu ku b’oyisaamu amaaso oluusi oyinza okubeetaaga.

*******************************
J Omole ow’e Busia yaloota ng’embwa emulumye ekigere, omukazi omukadde n’amusibako ebikoola n’amugamba agende mu ddwaaliro. Kikulabula okweggyamu ekanyoomonyoomo k’obadde okola kubanga kayinza okukulemesa bye wandibadde ofuna n’okukukyayisa abantu abalala.

**************************
MUSISI e Bulyankuyege yaloota ng’ayunja enkota z’amatooke ennene ate nga nnyirivu mu lusuku lwe olw’olunnyu. Kitegeeza nga obutayagala kuyiga n’okwebuuza bwe binaalwawo nga bikusibidde mu bwavu. Kirungi okyuse mu ndowooza yo.

*************************
IDI ow’e Katwe yaloota omusajja eyali amuwa ssente ennyingi ennyo naye nga tamanyi lwaki azimuwa. Kitegeeza nga bw’onootera okufuna ssnete ze wali osuubira n’otozifuna , era n’oziggya ne mu birowoozo.

*************************
KIGOZI e Luzira yaloota ng’asanze munne ku mulimu gye bakola ng’ali mu kafubo ne mukama waabwe abakozesa, bwe baamulaba ne beekanga ne basazaamu ne bye baali boogera. Kino ekirooto kikulabula okwerinda omuntu ow’olugambo anaakutuusaako ebigambo ebinaakukyayisa omu ku baganda bo.

*************************
DENNIS e Jinja yaloose bali bangi naye nga jjajja waabwe abagoba baleme okuyita waali ate nga yafa dda. Kikulabula obutamala gamansamansa oba okutundatunda ebintu kitaawo oba jjajjaawo bye yakulekera, oluvannyuma oleme kwejjusa.

****************************
ONO atera okuloota nnyina eyafa ng’ali mu mbeera gye yalimu nga mulwadde oba nga yafudde, ate olulala yamuloota ng’afudde ate n’amulaba nga mulwadde nnyo. Kitegeeza nga bw’olina ensonga oba ekintu omu ku bakadde bo kye yakuyigiriza kye wavaako n’otandika okweyisa nga bw’olaba.

***************************
K Gaddafi e Zzana yaloose jjajja we eyafa nga bali mu bantu bangi.
Kino ekirooto kikuwa amagezi okuba ne ky’okola n’omwoyo gumu ojja kuwangula.

********************************
WALIYO eyaloose ng’asena amazzi mu luzzi ng’ebbali waliyo amayinja. Kitegeeza bugagga naye ng’omaze kubukolerera, era nga ne by’okola birabika kisobozese mikwano gyo okwongera okukuyamba.

**************************

KING Geoff yaloose emisota nga mingi nga giri ku kiswa emikulu n’emito ng’egimu giyingira mu kiswa. Kino kikulabula okwerinda abantu b’oyita mikwano gyo sso ng’abamu misota gya busagwa.
**************************

ONO aloota ayonoonye mu kkubo wakati ate nga baaniseewo engoye n’akwata akatambaala n’alongoosaawo. Kikulabula ebyenfuna by’onoonya obinoonye bulungi kubanga biyinza okukubula oba okukusala mu buzibu.

*****************************
SEMA e Masajja yaloose ali mu lutalo ng’ayambadde kombati z’amagye n’awangula be yabadde alwanyisa. Kitegeeza okuvuganyizibwa okwakaasammeeme mu bantu b’olinako oluganda oba akakwate ak’engeri endala nga wandibadde mwegendereza obuteyingiza mu nsonga zaabwe.

 

Okuloota ng’olaba mikwano gyo balwana kiraga nkaayana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...