
Ssenga nnina mukwano gwange alina emyaka 22. Lumu twali mu mbaga ne tunywa omwenge ne tutamiira n’angamba twebake ffembi kye nnakola, naye tangambangako nti anjagala wabula nze mwagala. Nkole ntya okumuwangula!
Mwebaka bwebasi oba mwegatta? Kubanga mwana wange omwenge muzibu naddala ng’onywedde mungi n’otamiira.
Omwenge gusobola okukukozesa ebintu ebikyamu. Oba takugambako nti akwagala weetegereze ebikolwa bye n’empisa ze nga tatamidde kubanga waliwo ebiraga omuntu akwagala. Nsuubira oba naye akwagala ebikolwa ogenda kubiraba.
Mmulage ntya nti mmwagala?