TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nagenda okuva mu kkomera nnasanga omuwala anzibye

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga omuwala anzibye

Added 24th January 2020

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala. Nnalina kasitoma wange nga mukyala naye ng’ajja n’angulako obugoye obunyirira naddala obuli ku mulembe kubanga yali mwambazi mulungi. Okunyirira kwe kwampaliriza okumusonseka obugambo ate naye n’akkiriza. Lumu nnali ku mulimu nga ntunda ngoye ku nguudo za Kampala, abaserikale abaali batatukkiriza kukolerawo ne bankwata ne bantwala e Luzira gye nnamala omwezi mulamba.

 Joshua Kayiira.

Joshua Kayiira.

 

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.

Nnalina kasitoma wange nga mukyala naye ng'ajja n'angulako obugoye obunyirira naddala obuli ku mulembe  kubanga yali mwambazi mulungi. Okunyirira kwe kwampaliriza okumusonseka obugambo ate naye n'akkiriza. 

Lumu nnali ku mulimu nga ntunda ngoye ku nguudo za Kampala, abaserikale abaali batatukkiriza kukolerawo ne bankwata ne bantwala e Luzira gye nnamala omwezi mulamba.

Mu wiiki ssatu ezaasooka nga ndi Luzira, yasooka n'ajja okunnambulako naye olumu yajja n'antegeeza nti landiroodi amubanja  ssente z'ennyumba era yamugobye mu nnyumba nga yali atandise kubeera wa muganda we kyokka ng'alimba. 

Ku bbanga ery'omwaka lye nnali mmaze nga mbeera n'omukyala ono, nnali simusuubiramu buyaaye era nga mmwesiga. 

Ku lunaku lwe banta okuva mu kkomera e Luzira, omukyala ono yajja n'annonako naye bwe twatuuka mu kibuga, kwe kuhhamba nga bwe yali agenda ewa muganda we era nange saamukaluubiriza ne mmuleka. Yalowooza nti nnali hhenze kyokka nasigala mulinnya akagere okukkakkana nga ntuuse ku nnyumba gye yali apangisa nga n'ebintu byange byonna yabyezza.

Nagezaako okubimusaba n'agaana nange kwe kusalawo okumwesonyiwa. Nakola ebintu ebirala ne nfuna n'omukyala omulala nga kati tulina n'omwana era obulamu butambula bulungi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...