TOP

Ayokezza muwala we lwa butayoza bintu

Added 28th January 2013

OMUKAZI asitudde esseffuliya y'amazzi ku ssigiri n'agayiira omwana wa muggyawe ng'amulanga obutayoza bintu. Rose Nakirya 24, ow’e Kasangati ayiiridde Jane Nansubuga amazzi ageeseze era kati apooca mu ddwaaliro e Mulago.

Bya DEBORAH NANFUKA ne EVA NALUWAGGA

OMUKAZI asitudde esseffuliya y'amazzi ku ssigiri n'agayiira omwana wa muggyawe ng'amulanga obutayoza bintu. Rose Nakirya 24, ow’e Kasangati ayiiridde Jane Nansubuga amazzi ageeseze era kati apooca mu ddwaaliro e Mulago.

Poliisi y’e Mulago ekutte Nakirya bw’asangiddwa ng’ajjanjaba omwana ono kyokka ng’alimba nti omwana yeeyokezza yekka.

Omwana ye yamuvuddemu n’agamba nti, nnyina yakomyewo ekiro n'amusanga nga tayozezza bintu n'asitula akaseffuliya k'amazzi agaabadde ku ssigiri n'agamuyiira n'esseffuliya n'emutema omugongo.

Nakirya oluvannyuma yakkirizza okuyiira omwana amazzi nti yakikoze mu busungu ng’omwana tayozezza masowaani.

Omwana alumiriza nnyina nti bulijjo amukuba nga yeeyambisa ekyuma era n'alaga poliisi omugongo ngagwonna gujjudde emiggo n'emuggulako omusango ku SD Ref 14/24/01/2013 ku poliisi y’e Mulago.

Kitaawe w’omwana agamba nti, Brenda yaakamufuna omwaka gumu emabega era tamulinaamu mwana kyokka tamanyi lwaki tayagala muwala we.

Ayokezza muwala we lwa butayoza bintu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...