TOP

Abaana abafa mu nkambi ye Sango Bay beeyongedde

Added 26th November 2013

EMBEERA ey’ebyobulamu, ebyendya, ensula n’obudde mu nkambi y’e Sangobay mu ggombolola y’e Kakuuto e Rakai awakuumirwa abantu 5,000 abaagobwa e Tanzania ne babudamizibwaayo yeerariikiriza olw’omuwendo gw’abaana abafa ogweyongedde nga kati bataano beebakafa!



Bya JOHNBOSCO MULYOWA

EMBEERA ey’ebyobulamu, ebyendya, ensula n’obudde mu nkambi y’e Sangobay mu ggombolola y’e Kakuuto e Rakai awakuumirwa abantu 5,000 abaagobwa e Tanzania ne babudamizibwaayo yeerariikiriza olw’omuwendo gw’abaana abafa ogweyongedde nga kati bataano beebakafa!

Kino kireeseewo okweraliikirira naddala mu bakyala abali mu nkambi abeeyongera okuzaala nga kati abakaazaalira mu nkambi eno bukya baleetebwaayo omwezi oguwedde baweze musanvu ate nga 98 be bali embuto enkulu.

Ssentebe w’abantu bano abali mu nkambi eno Joseph Tulyakira agamba nti ekisinze okuvaako abaana okufa kwe kubulwa obujjanjabi naddala obw’obulwadde bw’omusujja, endya embi nga n’abamu kivudde ku njala n’okubulwa amazzi mu mubiri era nga balina okutya nti naddala abo abazaliddwa mu nkambi bakyeyongera okufa singa tewabaawo ky’amaanyi kikolebwa ku mbeera eno.

Yadde abantu bano bangi nnyo kyokka wakyaliwo okusomoozesebwa nti bakyalina abasawo babiri bokka ababakolako nga weetaagisaayo abasawo abalala. Ababiri, bokka abaliwo bakola nnyo ng’ate emisinde abantu bano kwe balwalira gya waggulu nnyo naddala abaana abato n’abakyala.

‘’Eddagala ttono nnyo ng’ate endya mbi kati, wano tulya kawunga kokka akatuweebwa Gavumenti ya Uganda ng’ate emmere ng’eno tekola bulungi naddala mu baana ekireseewo abaana okutandika okulwala olwendya embi ne kivaamu kuggwaamu mazzi mu mubiri.

Abalwadde bateekebwaako ccupa z’amazzi era abamu bafudde,’’ Joseph Tulyakira bwe yagasseeko.

Abaana abaakafa kuliko Yusufu Tulyakira (2), Revina Kyomugisha (myezi musanvu), Deusi Baala (10) n’omulala eyali yaakazaalibwa kw’ossa Betesi Katusiime ng’ono yafudde nga November 21 era n’aziikibwa mu limbo e Kakuuto nga n’abalala we bababadde baziikibwa.

Omukiise mu lukiiko e Mmengo Owek.Maria Babirye Kabanda era ngayaakulira essomero lya Bressed Sacrement e Kamaanya mu Masaka yatuseeko mu nkambi eno nettu ely’ebikozesebwa naddala eri abaana abawere nebannakawere ebiri mu bukadde buna byeyabaggulidde kwossa ebirala omwabadde engoye n’enatto byeyakungaanyiza okuva mu baana awamu naabasomesa ku ssomero era naabigabira ababadde bakazaala.

‘’Natuuseeko mu woofiisi ya Ssaabaminisita nemutegeeza ku mbeera eno era yansuubiza mu bbanga lya nnaku nga satu zokka agenda kuweereza abasawo kwossa ebikozesebwa mu bwangu okwongera okuddukirira abantu bano kuba ekituufu kiri nti embeera gyebalimu mbi nnyo naddala eri ku baana naabakyaala ‘’Maria Babirye Kabanda bweyagaseeko.

Yabatonedde n’emipiira eri abaana naabavubuka okugikozesa okusamba mu biseera byaabwe eby’eddembe naayoongera okukowoola ebitongole ebirala okwongera okuvaayo okudduukirira abantu bano kuba embeera gyebalimu mbi nnyo.

Abaana abafa mu nkambi ye Sango Bay beeyongedde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...