TOP
  • Home
  • Amawulire
  • JULIANA; Omwana wange nnamutwala mmusitudde nkomezaawo mulambo

JULIANA; Omwana wange nnamutwala mmusitudde nkomezaawo mulambo

Added 23rd July 2014

OMULAMBO gw’omwana wa Juliana gwatuuse ku ssaawa 2:00 ez’ekiro ky’eggulo wakati mu kyobeero okuva mu bazadde, abooluganda ne mikwano gya Juliana wamu n’ab’oludda lwa Amon Lukwago, taata w’omwana, Keron Raphael Kabugo, 11.



Bya JOSEPHAT SSEGUYA, MARTIN NDIJJO, R. KIBIRIGE, M. NSUBUGA NE R. MUBIRU


OMULAMBO gw’omwana wa Juliana gwatuuse ku ssaawa 2:00 ez’ekiro ky’eggulo wakati mu kyobeero okuva mu bazadde, abooluganda ne mikwano gya Juliana wamu n’ab’oludda lwa Amon Lukwago, taata w’omwana, Keron Raphael Kabugo, 11.

Muzeeyi Misuseera Kabugo yakulembedde abooludda lwa taata w’omwana okulindirira omulambo ku kisaawe e Ntebe (Misuseera y’azaala Amon).

Juliana olwavudde mu nnyonyi ya Kenya Airways ne bamukolera entegeka eyenjawulo ey’okumusembereza emmotoka kuba yabadde mugonvu nnyo.

Keesi omuli omulambo nga yaakaggyibwa ku nnyonyi ya Kenya Airways.

Omulambo nga guggyibwa ku kisaawe e Ntebe eggulo.

Emmotoka gye baamuleetedde ya mukwano gwe, Judith Heard era yawuliddwa munda mu mmotoka ng’ayaziirana mu ngeri ekaabya: Keron, Keron, Keron; kati nkuyita tokyayitaba! Nakutwala tunyumya kati tokyavaamu ddoboozi! Nakutwala osobola okwenyeenya, kati ne bwe nkukoonako teweenyeenya! Yii Mukama!”

Keron yafiiridde mu ddwaaliro lya Aga Khan e Nairobi ku Ssande ng’obulwadde bwa ‘Asima’ busaasaanye omubiri ne bumulemesa okussa obulungi.

Emmotoka ya Judith Heard (ku kkono) omwagendedde Juliana ng’ewerekera eya Funeral Service’.

Muzeeyi Kabugo (ku kkono) n’aba famire ye nga basoma Bukedde e Kawuku eggulo.

Ye mwana yekka Juliana gw’abadde alina ku nsi nga yamuzaala mu 2003 mu kiseera we yali akwataganira ennyo ne Amon kyokka oluvannyuma ne bafuna obutakkaanya ne baawukana, omwana n’asigala mu mikono gya nnyina.

Amon, taata w’omwana naye yajjidde ku mulambo kuba y’omu ku babadde e Nairobi okufuba okutaasa obulamu bwe, ekitaasobose.

Yatuukidde awaabadde kitaawe era ne batandikirawo okumusaasira n’okumugumya.

Abantu bangi baabadde balinze omulambo e Ntebe n’okugumya Juliana ne Amon kyokka kyabadde kikkaanyiziddwaako abazadde bano bombi obutabakkiriza kutuukira mu bantu bangi kuba baabadde bakooye nnyo ate nga waliwo okutya nti mu kusaasirwa okungi, bajja kubongera nnaku ate nga babadde batandise okuguma.

Abakungubazi ku maka ga Juliana e Lungujja.

Amon, taata w’omwana wa Juliana (owookubiri ku kkono) ne kitaawe Misuseera Kabugo (mu ssuuti) e Ntebe.

Ebirala ku mwana wa Juliana

Omwana wa Juliana Kanyomozi afudde

OKUZIIKA OMWANA WA JULIANA; Basonze obukadde 50 mu mabugo

Jjajja w’omwana agaanyi omulambo ewa Juliana
NG’OMULAMBO tegunnakomawo, abooluganda lwa Juliana baasoose kusisinkana Muzeeyi Kabugo mu maka ge e Kawuku okumpi n’e Ggaba mu Kampala ne bamusaba akkirize omulambo gw’omuzzukulu gusuzibweko e Lungujja ewa nnyina waakiri ekiro kimu wabula jjajja w’omwana yagobye okusaba kuno.
Ab’oludda lwa Juliana baabadde baagala okusuzaako omulambo e Lungujja mu Kampala (mu maka ga Juliana), omwana w’abadde abeera ne nnyina era w’akulidde ate nga ne nnyina abadde amwagala nnyo.

Bukedde yasisinkanye Kabugo mu maka ge e Kawuku eggulo n’ategeeza nti ku Mmande, yatuukiriddwa ab’enganda za Juliana abaamutegeezezza nti batumiddwa Muky. Catherine Manyindo Byabusa, maama wa Juliana, ku ky’okusuza omulambo e Lungujja nga gwakava e Nairobi.

Abakozi nga baddaabirizaenju y’oku  biggya e Kiryagonja.

Kyokka Muzeeyi Kabugo, eyaliko omukiise wa Nakaseke mu lukiiko lwa NRC mu 1987, kino yakigaanyi ng’agamba nti kizira. “Baali bakirabyeko mu Buganda? Abantu bawulira batya nti omufu asuze mu maka abiri?

Sikiwulirangako; tekiyinza kusookera wange.” Kabugo bwe yayanukudde.

Kabugo yagambye nti yeewuunyizza kubanga ku luno lwe yakitegedde nti ne taata wa Juliana yafa ne bamuziika nga tebamubikidde era nti kyamulumye nnyo mukulu munne okufa n’atamuziikako.

Ruth Bulezi, mwannyina wa Kabugo, yagambye nti ekifo kyokka we basobola okukkiriza omulambo okusula ly’eddwaaliro e Mulago, omulambo gusobole okukolwako nga tegunnaziikibwa ku Lwokutaano.

Ye Muky. Manyindo eyasangiddwa mu maka ga muwala we e Lungujja yagambye nti yaweereddwa ebiragiro obutaddamu kwogera na bannamawulire.

BAKKAANYIZZA KU BY’OKUZIIKA
Enjuyi zombi zaabadde n’ababaka mu lukiiko olwatudde e Lungujja ku ssaawa 6:00 ez’emisana eggulo okuttaanya enteekateeka z’okuziika.

Oluuyi lwa Kabugo lwabadde lwagala omwana aziikibwe ku Lwokusatu kyokka olwa Juliana ne lubamatiza baziike ku Lwokutaano era ne bakikkaanyaako.

  • Bakkaanyizza okuziika ku kiggya ky’ewaabwe e Kiryagonja Matugga ku lw’e Bbombo ku ssaawa 8:00 ez’emisana.
  • Bakkaanyizza nti omulambo gukwasibwe aba kkampuni enziisi ‘Funeral Service’ bagutwale mu ddwaaliro e Mulago gutegekebwe.
  • Ewa Juliana e Lungujja baakukungubaga ate n’ewa Kabugo e Kawuku bakungubage kyokka olwaleero n’enkya omulambo gusuzibwe e Kawuku era enjuyi zombi zaakukungubagira wamu.
  • Gwakutwalibwa mu kkanisa ya All Saints mu kusaba okw’enjawulo oluvannyuma gutwalibwe ku kiggya e Kiryagonja, mu kiseera kino awayooyootebwa nga n’enju esiigiddwa langi.
  • Abooluganda abaakulembeddwaamu Rogers Lukwago, muganda wa Amon Lukwago, baatulaze ekiggya we bagenda okuziika omugenzi era mu kiseera kino balindirira ba ‘Funeral Services’ okusima entaana n’okugiyooyoota.
  • Obukadde 50 bwe bubaliriddwa okukozesebwa mu kuziika n’okuliisa abakungubazi.

JULIANA; Omwana wange nnamutwala mmusitudde nkomezaawo mulambo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...

Police FC eyongedde okwenyweza

MU KAWEEFUBE wa Police FC ezannyira mu Star times Uganda Premier League okwetegekera sizoni ejja 2020/2021, basonjodde...