TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Juliana atadde abakuumi ku ntaana ya mutabani we

Juliana atadde abakuumi ku ntaana ya mutabani we

Added 2nd August 2014

JULIANA Kanyomozi apangisizza abaserikale okukuuma entaana y’omwana we, Keron Raphael Kabugo, e Matugga- Kiryagonja mu disitulikiti y’e Wakiso.



Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE ROGERS KIBIRIGE

JULIANA Kanyomozi apangisizza abaserikale okukuuma entaana y’omwana we, Keron Raphael Kabugo, e Matugga- Kiryagonja mu disitulikiti y’e Wakiso.

Kino kiddiridde okutya ababbi n’abantu abalala abayinza okusimula entaana eno okubbamu ebintu eby’omuwendo ebigambibwa nti byaziikibwa ne Keron.

Keron Kabugo yaziikibwa ku Lwakutaano ku kiggya kya bajjajjaabe kisangibwa mu maka g’omugenzi, Amos Lukwago nga bano be bazaala kitaawe, AmonLukwago.

Entaana ya Keron Kabugo ng’essiddwako ebimuli.

Keron eyafiira ku myaka 11, yali mu ddwaaliro lya Agha Khan e Nairobi Juliana gye yamuddusa ng’assiza ku byuma.

Bwe yamala okuziikibwa, amawulire gaasaasaana wonna mu Matugga – Kiryagonja n’emiriraano nti ekkeesi mwe yaziikiddwa ya bbeeyi nnyo ng’abatuuze bano baagibaliriddemu obukadde nga busatu.

Ennaku zino babba keesi ez’ebbeeyi era bangi bateekako abakuumi. Keesi eno eyakolebwa mu muti ogw’ebbeeyi, yatobeka langi eya kitaka n’endala eyali enzirugavu kyokka nga terabika nnyo ekyagireetera okwaka.

Amatiribona amalala agaali ku keesi eno mulimu emikonda mukaaga egyali gimasamasa nga gyefaananyiriza zaabu.

Emikonda esatu ku ludda olumu n’emirala esatu ku lulala gyali gisibiddwa ku kyuma ekiri ng’omuyini nga nakyo kyefaananyiriza ekyakolebwa mu zaabu.

Mu maaso gaayo n’emabega nayo waaliyo omukonda gumu gumu.

Yaliko akapande ak’ekyuma okwali kuwandiikiddwa amannyage n’ebigambo ebirala ebimwagaliza okuwummula emirembe kyokka nga na kano kaakolebwa mu langi eyefaananyiriza zaabu.

Wadde ng’omupiira ogwaziikibwa n’omwana ono, gwo gwa bulijjo, abatuuze balowooza nti nagwo gwa byafaayo.

Amatiribona gano, ge gamu ku gaawaliriza abaziizi okusooka okubikka sanduuke eno olubugo ne balyoka bagiyiwako ebintu ebirala bingi omwali ebimuli ereme kukulubuka.

Nga keesi ogitadde ku bbali, abatuuze balowooza nti, engeri Juliana gye yali ayagala ennyo omwanawe ate ng’alina n’essente, yamuziika n’ebintu by’omuwendo omuli emikuufu, empeta n’ebikomo ebirala ebya zaabu ebigambibwa nti yabigula mu Amerika.

Juliana yali apangisizza abakuumi bano okumala ebbanga lya mwezi gumu ng’entaana ekaze nga basasulwa20,000/- buli omu buli kiro kyokka kyazuuliddwa nti ebbanga liyinza okusukkamu olw’okuba abazimbi ba Funeral Services abalina okugikolako, baabadde basuubirwa okugitandikako
wiiki eno wabula kati basuubirwa wiiki ejja.

Bukedde we yatuukidde ku ntaana eno ku Lwokusatu, ab’ekika baabadde bamaze okusomba amazzi ag’okugizimba, omusenyu ne bbulooka nabyo nga weebiri.

Ebyabadde tebiriiwo ku ntaana gye twasanze ejjudde ebimuli ebitandise okukala, ge mayinja ag’ebbeeyi agagenda okugizimba, seminti n’abazimbi.

Twazzeeyo ekiro ne tusangawo abakuumi b’obusaale, ab’amajambiya, ab’emiggo nga beekapise mu bikooti ku ntaana ne batutegeeza nti n’abemmundu abava ku poliisi y’omu kitundu bayitawo ne balaba ekigenda mu maaso buli kiro.

Entaana eno eyasimibwa wakati mu bitooke n’emimwanyi, weeri waabadde wakutte ekizikiza ng’ebikoola ebikalu bye twabadde tulinnyamu bikola eddoboozi n’enkuyege ezaabibaddemu nga zisaakaanya era nga watiisa.

Ebirala ku kufa kwa Keron Kabugo

Omwana wa Juliana Kanyomozi afudde

OKUZIIKA OMWANA WA JULIANA; Basonze obukadde 50 mu mabugo

Juliana ayiiyizza oluyimba okusiibula omwana we

Taata w'omwana wa Juliana akikoze; Amwetondedde

Omwana wa Juliana aziikiddwa wakati mu kiyongobero

Weeraba omwagalwa wange

Famire ya Juliana emugaanyi okuddira Amon

 

 

Juliana atadde abakuumi ku ntaana ya mutabani we

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale atwala Kakooza okulinnya Kabangali.

Poliisi ekutte bana ababba ...

POLIISI ya CPS mu Kampala ekutte abavubuka abeenyigira mu kusala ensawo n’okubba abantu n’ebaggalira oluvannyuma...

Kamulegeya (ku kkono) n'omugenzi Kayongo.

ENSONGA 10 EZIGOBYE NDIRANG...

Supreme Mufuti, Sheikh  Ndirangwa yalekulidde nga kigambibwa nti e Kibuli waliyo obutakkaanya mu bukulu. Tukuleetedde...

Omusumba Serverus Jjumba.

Abasumba bavumiridde ebikol...

ABASUMBA okuli ow’essaza ly’e Masaka n’Omulabirizi wa West Buganda bavuddeyo ne bavumirira ebikolwa eby’okutyoboola...

Martin Kiiza akulira ekibiina ekya National Children Authority ng'annyonnyola ku mbeera y'abaana mu kiseera ky'omuggalo

Omuwendo gw'abaana abakabas...

  EKITONGOLE ekikola ku nsonga z'abaana ekya National Children Authority (NCA) kiwadde lipooti ku ngeri embeera...

Kalinge

Avunaaniddwa lwa kusaba sse...

OMUKOZI mu minisitule y'ensonga z'omunda mu ggwanga asimbiddwa mu kkooti e Nakawa n'aggulwako omusango gw'okusaba...