TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukozi naye alulojja; Kayihura alagidde okumuggya e Luzira

Omukozi naye alulojja; Kayihura alagidde okumuggya e Luzira

Added 26th November 2014

HAWUSIGAALO Jolly Tumuhiirwe eyabuzeeko akatono okutta omwana wa Bboosi we, yasoose kweyambula bbulawuzi n’alaga poliisi ebinuubule by’agamba nti bakamaabe be baabimutuusizzaako.

Bya AHMED MUKIIBI

HAWUSIGAALO Jolly Tumuhiirwe eyabuzeeko akatono okutta omwana wa Bboosi we, yasoose kweyambula bbulawuzi n’alaga poliisi ebinuubule by’agamba nti bakamaabe be baabimutuusizzaako. Ebinuubule bino biri ku mikono ne mu mugongo.

Yalaze omusaayi oguli ku bbulawuzi ye eya ‘pinki’ n’alyoka ategeeza poliisi nti: Wadde nnakubye omwana ng’agaanye okulya emmere naye saamuleese musaayi; kyokka mulabe nze kye bankoze!

Olwo aba poliisi y’e Kiwaatule baabadde batandise okukkiriza okwemulugunya omuwala owa ‘kilo’ ezisukka 70, kwe yabadde abaleetedde era we baasinzidde okulagira Eric Kamanzi (taata w’omwana) akwatibwe mbagirawo.

Bitandikira wano;

Minisita ayingidde mu by’omukozi eyatulugunyizza omwana

Emisango omuwala ono gye yasoose okuwaaba yabadde agyesigamya ku kumukuba kw’agamba okwabaddewo nga Kamanzi alabye vidiyo eraga bwe baatulugunyizza omwanawe Arnella.

Poliisi yawalirizza Kamanzi okusasula omuwala ensimbi 60,000/= ez’omwezi wadde ng’abadde yaakakolako ennaku 26 era n’ebawa amagezi baawukane, omuwala addeyo gye yava.

Tumuhiirwe (ku kkono) ng’alaga omusaayi ku lugoye lw’agamba nti Kamanzi mwe yamukubira.

Ab’ekibiina kya Platform For Labour Action (PLA) ekirwanirira eddembe ly’abakozi kyasoose kulwanirira muwala ono ng’akitegeezezza nti wadde poliisi yabadde eragidde Kamanzi okumusasula ssente 60,000/= n’ebintu bye yajja nabyo; wabula Kamanzi nti yabadde agaanye okussa kino mu nkola.

Ab’ekibiina kino baayingidde mu nsonga ne bakakasa nti Tumuhiirwe asasulwa n’okuweebwa kyonna ekikye era baabaddewo ng’abajulizi nga Kamanzi awaayo ssente n’ebintu.

Kyokka ne Kamanzi okukola bino yabadde alowooza nti okutulugunya kwakoma ku mpi ezisooka okulabika mu ka vidiyo; ate n’ab’ekibiina ky’abakozi nabo baabadde tebannalaba ku ka vidiyo ak’entiisa.

Enkaayana nga zimaze okugonjoolwa nga n’omuwala agenze, Kamanzi ne mukaziwe baafunye akadde ne basalawo okuddamu okuyita mu katambi ke baabadde balabyeko ekitundu.

Baaguddewo ekigwo nga kye balaba tebakikkiriza!

Amaziga gaabayiseemu nga balaba eggwala lyekkase waggulu ku kaana likasottasota n’obuzito bwalyo bwonna!

Tumuhiirwe eyatulugunyizza omwana ng’akutte 60,000/- ze baamusasudde.

Wano we baasitulidde buto omusango era ne bakolagana ne poliisi eyakolaganye n’abeekibiina ky’abakozi ne baddamu okulondoola Tumuhiirwe n’akwatibwa.

Ekibiina ky’abakozi kyasoose kumuwolereza Kyokka bino byonna poliisi yabikoze nga temaze kulaba ku katambi ka vidiyo, ate nga Kamanzi ne mukaziwe Angella Mbabazi nabo tebaalabye katambi konna kukamalayo.

Obusungu okukwata Kamanzi alyoke atabukire omuwala yabadde alabyeko ekitundu ekiraga Hawusigaalo ono ng’akaka omwana eby’okunywa nga bw’amupacca empi ez’amaanyi; era wano we
yaviiridde mu mbeera n’atabukira omuwala.

Ekitundu ekiraga omwana ng’akomyawo bye yabadde akakiddwa okunywa, okumukubisa ‘ttooci’ n’okumusottasotta, Kamanzi ne mukaziwe baakirabye luvannyuma nga n’omuwala amaze okugenda kuva waka nga bamuwadde ssente n’akaveera k’engoye ze!

Kayihura alagidde ‘hawusigaalo’ bamuggye e Luzira Omuduumizi wa Poliisi, Gen. Kale Kayihura alagidde akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango, Grace Akullo okugenda e Luzira aggyewo omuwala kalittima Jolly Tumuhiirwe addemu aggyibweko siteetimenti nga bamuteekateeka okuggulwako omusango gw’okugezaako okutta omwana n’emisango emirala, asobole okufuna ekibonerezo ekikakali.

Tumuhiirwe ng’alaga emisale gy’emiggo, Kamanzi gye yamukuba oluvannyuma lw’okutulugunya omwana we.

“Omusango guno okugenda obulungi mu maaso, omuwala oyo basooke bamuggye e Luzira adde ku Poliisi, akole siteetimenti empya ku by’okugezaako okutta omwana.

Akullo kino njagala okikole mu bwangu,” Kayihura bwe yalagidde.

Bino Kayihura yabyogeredde mu lukung’aana lw’abaamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naggulu ng’ali ne Eric Kamanzi ne Angella Mbabazi bazadde b’omwana Arnella, eyatulugunyiziddwa.

Yalagidde nti nga Akullo tannagenda Luzira, alina kusooka mu kkooti e Nakawa okussaayo ebiwandiiko ebisaba Tumuhiirwe aggyibwe e Luzira.

Kayihura yagambye nti Gavumenti tegenda kusanga buzibu bwonna mu musango guno kubanga vidiyo eyakwatibwa nga Tumuhiirwe atulugunya omwana, bujulizi obujjudde obumala okumusingisa omusango.

Yasiimye bazadde b’omwana okuteeka kkamera mu nnyumba n’ekwata ebifaananyi ebikakasa nti abadde amutulugunya.

Yagambye nti kkamera eraga bulungi Tumuhiirwe bw’atulugunya omwana omuli okumukuba, okumusuula wansi ku seminti n’ebintu ebirala nga kizibu okuwakanya obujulizi buno mu kkooti.

Akullo, naye eyeetabye mu lukung’aana lwa bannamawulire, yagambye nti wiiki eno nga tennaggwaako, Tumuhiirwe ajja kuba aggyiddwa e Luzira bamuggyeko siteetimenti empya nga Kayihura bwe yalagidde.

Tumuhiirwe (ku ddyo) n’omu ku b’ekibiina ekyasooka okumulwanirira.

POLIISI EREETA ETTEEKA KU ‘BAHAWUSIGAALO’
Yategeezezza nti yadde nga bazadde b’omwana baamututte mu ddwaaliro n’afuna obujjanjabi, Poliisi nayo egenda kumutwala ew’omusawo waayo bongere okumwekebejja okusingawo okuzuula embeera mw’ali.

Kayihura yagambye nti poliisi egenda kuleeta enkola eyeekenneenya abakozi bonna okusobola okufuna ebibakwatako nga atalina satifikeeti tajja kukkirizibwa kukola mu maka g’omuntu kuba abamu kizuuliddwa nga balina emisango gye bazza yadde nga Tumuhiirwe yannyonnyola poliisi nga bw’atalina buzibu bwonna ne bakama be.

Kamanzi ne muwala we Arnella eyatulugunyiziddwa omukozi.

‘BAHAWUSIGAALO’ Bavumiridde munnaabwe
Abakozi b’awaka bavuddeyo ne bavumirira munnaabwe Jolly Tumuhiirwe: Prossy Nakitto ow’e Nakawa ne Falahiya Masane ow’e Kawempe baakiikiridde bannaabwe mu lukung’aana lwa bannamawulire olwategekeddwa ekibiina kya Platform For Labour Action (PLA) ekirwanirira eddembe ky’abaana n’abakozi.

Masane, eyategeezezza nti yaakamala mu ‘bwahawusigaalo’ emyaka egisoba mu kkumi, yagambye nti, “Ng’abakozi b’awaka, twagala okwegatta ku Bannayuganda abalala okuvumirira Tumuhiirwe olw’okutulugunya n’okutyoboola eddembe ly’omwana.

Tusaba Gavumenti Tumuhiirwe akwatibwe ng’amateeka bwe galagira.” Nakitto yagambye nti ebikolwa bya Tumuhiirwe byabakoze bubi nnyo ng’abakozi b’awaka kubanga byawadde ekifaananyi ekikyamu n’annyonnyola nti abakozi abasinga obungi beeyisa bulungi era balina enkolagana ennungi ne bakama baabwe.

Falahiya Masane (ku kkono) omukozi w’awaka mu maka agamu e Kawempe,
ne Prossy Nakitto, naye akola mu maka agamu e Nakawa. Beeyambisibwa
ekibiina kya PLA okusomesa bannaabwe enneeyisa ennungi.

‘BAHAWUSIGAALO’ ba funenga emisomo
Bombi, Nakitto ne Masane baavumiridde abakozi abamalira ekiruyi ku baana nga beerimbika ku ky’okubasasula ssente entono ne bagamba nti ekyo kikyamu kuba abakozi abasinga basooka kukkaanya ne bakama baabwe ku ssente ez’okubasasula wadde nga zibeera wansi.

Basabye abakozesa nabo okukyuusa mu nneeyisa zaabwe embi ku bakozi kubanga bangi ku bakozi tebabeera babi kyokka oluusi bafuna emitima emibi oluvannyuma lw’okuyisibwa obubi bakama baabwe n’abaana baabwe.

Nakitto yagambye nti waliwo abakozi abamu abayisibwa obubi ennyo ng’oluusi baliisibwa ne ku mmere y’embwa, okummibwa emmere n’okubaligita emiggo buli lwe bakola ensobi.

Masane yasabye abakozesa okukkiriza abakozi baabwe okufuna emisomo ku nneeyisa n’enkola ey’emirimu kuba abakozi balina ebibiina ebibagatta mwe bayita okusomesa bannaabwe ku nneeyisa ennungi n’eddembe lyabwe.

Tumuhiirwe baamukwatidde Mutungo
Tumuhiirwe, 22, yava e Rukungiri gy’azaalwa oluvannyuma lw’okulaajanira omu ku w’oluganda lwe abeera e Mutungo n’amutegeeza nti akooye ekyalo, ayagala kujja mu Kampala atandike okukola.

Yasinziira Mutungo okufuna omulimu e Naalya ewa Kamanzi wabula Kamanzi agamba nti omuwala ono yatandikirawo okutulugunya omwana era kino ky’ekyabatuusa okufuna kkamera ze baateeka mu ddiiro okulaba ekigenda mu maaso awaka bwe baba tebaliiwo.

Ab’ekibiina ky’abakozi (PLA) baakubidde omuwala ono nga nabo bamaze okulaba akatambi ne bamutegeeza nti bamufunidde omulimu, abalagirire waali bamukime.

Yabalagiridde e Mutungo ne bagenda ne bambega ba poliisi abaamukutte ne bamutwala ku poliisi n’aggulwako ogw’okutulugunya omwana era amangu ago n’atwalibwa mu kkooti e Nakawa
eyamusindise e Luzira n’aweebwa olwa December 8, okuzzibwa yeewozeeko.

Munnamateeka Lydia Bwite ow’omu kibiina ekirwanirira abakozi yategeezezza nti Tumuhiirwe yali abategeezezza nti Kamanzi yali amwefuulidde nga bava ku poliisi nti n’atuuka n’okumusindika okumuggya mu mmotoka n’agwa mu luguudo n’anuubuka.

Nti olwo baali batuuse ku luguudo lwa Northern By Pass nga badda Naalya mu maka ga Kamanzi aweebwe ssente n’ebintu bye; nti era ab’ekibiina ky’abakozi awo we baayongeramu amaanyi asasulwe.

Bwite yannyonyodde nti mu kiseera ekyo akatambi okuli ebikolwa bya Tumuhiirwe eby’ettima baali tebannakalaba.

“ Mu kukkiriza okusasula omukozi, Kamanzi yali tannamalayo kulaba Vidiyo yonna” Bwete bwe yagambye n’agamba nti omuwala bwe baamuwa ssente n’agenda e Mutungo mu by’enganda ze.

Nga wayise ennaku bbiri, Bwite yategeezezza nti yafuna essimu okuva ku Poliisi nga bamutegeeza nti waliwo obujulizi obwali buzuuliddwa nga beetaaga Tumuhiirwe era kwe kugendayo ne bamulaga
Vidiyo mu bujjuvu ne yeesisiwala era kwe kufuna aba Poliisi ne bagenda e Mutungo ne bakwata Tumuhiiwe.

<

Omukozi naye alulojja; Kayihura alagidde okumuggya e Luzira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...