TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukozi eyatulugunya omwana afunye looya ow'amaanyi

Omukozi eyatulugunya omwana afunye looya ow'amaanyi

Added 26th November 2014

MUNNAMATEEKA w’omu Kampala ow’amaanyi yeesowoddeyo okuwolereza ‘hawusigaalo’ kalittima eyabadde atta omwana wa mukama we.

Bya AHMED MUKIIBI


MUNNAMATEEKA w’omu Kampala ow’amaanyi yeesowoddeyo okuwolereza ‘hawusigaalo’ kalittima eyabadde atta omwana wa mukama we.

Ladislaus Rwakafuzi, yategeezezza Bukedde eggulo nti alina ebituli bingi by’alabye mu katambi akaalaze ‘hawusigaalo’ Jolly Tumuhiirwe ng’atulugunya omwana n’ettima eritalojjeka.

Tumuhiirwe, 22, nga nzaalwa y’e Rukungiri, ali mu kkomera e Luzira gye yasindikiddwa ku limanda okutuusa nga December 8, 2014 lw’asuubirwa okuzzibwa mu kkooti akuwerennemba n’emisango okuli ogw’okutulugunya n’okugezaako okutta omwana.

Munnamateeka Rwakafuzi, eyeegulide erinnya mu kulwanirira eddembe ly’obuntu, yagambye nti mweteefuteefu okuwolereza Tumuhiirwe ku bwereere kubanga ensi yonna emuvuddemu sso nga tannawulirizibwa wadde okusingisibwa omusango.

“Konsitityusoni n’amateeka ga Uganda galambika bulungi nti omuntu tabeera na musango okutuusa ng’amaze kuwozesebwa omusango ne gumukka mu vvi kyokka , buli muntu gw’owulira yasazeewo dda nti Tumuhiirwe gwamusinze, ekyo nga nze munnateeka assa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu siyinza kukiwagira”, bwe yagambye.

Rwakafuzi yategeezezza nti akimanyi mikwano gye bagenda kumunyiigira olw’okwesowolayo okwolereza Tumuhiirwe kyokka ye tafaayo kubanga akimanyi nti ky’akola kye kituufu okulwanirira eddembe ery’omuntu abanatu abalala gwe bavuddemu.

Laba ne bino

Omukozi naye alulojja; Kayihura alagidde okumuggya e Luzira

Akatambi akalaga okutulugunya, Rwakafuzi yakakubyemu ebituli n’agamba nti ajja kweyambisa ebituli ebyo okusaba omulamuzi okwejjereza Tumuhiirwe.

Mu katambi, Kamera yakutte Tumuhiirwe ng’atulugunya omwana kumpi kumutta obussi nga yasoose kumupacca mpi mu maaso bwe ‘ppyaaa.., ng’eno bw’amupiika emmere ey’okumukumu okutuusa kakazikattu bwe kaagizizza.

Mu kuzza emmere, omwana yasiikula Tumuhiirwe emmeeme n’alyooka amunyugunya ku ttaka ng’ekitereke n’akwata ttooki empanvu n’amuweweenyula ku bunyuma ng’alinga akuba omusota, okutuuka omukono lwe gwamufuuyirira n’asalawo okusamba omwana ng’omupiira okwetoloola eddiiro lyonna ate ng’asamba ku muwe ne mu mbiriizi.

Kamanzi n'omwana we eyatulugunyiziddwa Tumuhiirwe ku ddyo

Bwe yamala okumusamba n’addako okumulinnyako ng’eno bw’amusotta okutuusa omwana bwe yalekera awo okukaaba nga kirabika azirise era awo we yamupakulirawo n’amuwuuba mu bbanga ng’eno bw’amutwala mu kisenge.

Kyokka Lwakafuzi yagambye nti bwanaaba mu kkooti ajja kulaga Omulamuzi ebituli mu katambi n’awa ekyokulabiako nti, tewali ngeri Tumuhiirwe ku bunene n’obuzito bwe gye yali asobola okulinnya mwana n’amuyimirirako ng’akatambi bwe kalaga n’abeera nga teyamumenya wadde olubirizi olumu.

Bazadde b’omwana, Angella Mbabazi ne Eric Kamanzi baategeezezza bannawulire ku Mmande nti omwana baamutwala mu ddwaaliro, abasawo ne bamwekebejja nga teyamenyeka okuggyako ebinuubule ku mubiri.

Wabula Omuduumizi wa Poliisi, Gen. Kale Kayihura yategeezezza nti Poliisi egenda kuddamu okwekebbejja omwana, Aneela, okukakasa nti buli kitundu ky’omubiri gwe kiri mu mbeera nnungi.

ALUMBYE GEN. KAYIHURA
Ku musango ogw’okugezaako okutta omwana, Gavumenti gw’eteeseteese okuvunaana Tumuhiirwe, Rwakafuzi yagambye nti, “Omusango ogw’okugezaako okutta omuntu si mwangu kubanga wateekwa okubaawo obujulizi obw’enkunkunala naye nze nga bwe ndaba, obujulizi Gavumenti bwe yeesigamyeko tebumatiza.”

Yagambye nti ensobi abantu gye bakola kwe kulowooza nti omusango guwangulirwa ku kwogera nnyo ku leediyo ne mu mboozi.

Yalumbye Gen. Kayihura nti oyo wadde munnamateeka, eby’amateeka yabivaako dda ali mu byabufuzi, nga buli kimu akiyingizzaamu ebyobufuzi.

Rwakafuzi looya agenda okuwolereza Tumuhiirwe

Rwakafuzi y’ani?

  • Rwakafuzi amaze emyaka egisoba mu 20 mu mulimu gw’Ebyamateeka.
  • Ye nnannyini kkampuni ya Bannamateeka eya Rwakafuzi & Co. Advocates
  • Yakuguka mu mateeka ag’Ebyeddembe ly’obuntu.
  • Y’omu ku bannamateeka ba Dr. Kiiza Besigye, eyali pulezidenti wa FDC.
  • Rwakafuzi yali omu ku bannamateeka abaapangisibwa okuwolereza abeekalakaasi abaakwatibwa mu September 2009 mu kwekalakaasa nga Gavumenti egaanyi Kabaka okugenda e Kayunga. Omusango guno Rwakafuzi yaguwangula.
  • Gavumenti bwe yakwata abasajja 18 okwali n’abagwira Abasomaali ne Bannakenya ku bigambibwa nti beenyigira mu lukwe olw’okutega bbomu ezatta abantu kumpi 80 e Lugogo n’e Kabalagala nga July 11, 2010, Rwakafuzi yeesowolayo n’abawolereza mu kkooti.
  • Rwakafuzi era y’omu ku bannamateeka abawolereza bannabyabufuzi ab’oludda oluvuganya naddala buli lwe bakwatibwa Poliisi ku by’okukuba ekuhhaana ezimenya amateeka n’okwekalakaasa.

Omukozi eyatulugunya omwana afunye looya ow’amaanyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobi

Ekitongole ky'omusolo kimez...

EKITONGOLE ekisolooza omusolo ekya URA kimezze Robert Kyagulanyi ( Bobi Wine) mu musango gw'emmotoka ye etayitamu...

Magogo ng'ayogera mu lukungaana lwa bannamawulire.

Nkomawo okwesimbawo ekisanj...

PULEZIDENTI wa FUFA Ying.  Moses Magogo alangiridde nga bwagenda okwesimbawo mu kisanja ekyokusatu mu August omwaka...

Fr. Joseph Kyakuwadde ng'asomesa mu Mmisa.

Abantu mweggyemu emitima eg...

Abantu mweggyemu emitima egy'obuggya, fitina n'obukyayi kuba bizing'amya  enkulaakulana y'ebitundu.  Fr. Joseph...

Ab'ekitongole ekya Jjaja Foundation nga bakwasa abakadde obuyambi .

Abakadde 200 badduukiriddwa...

ABAKADDE 200  ku byalo eby'enjawulo mu ggombolola y'e Bulamagi mu disitulikiti y'e Iganga badduukiriddwa n'emmere, ...

Amaka ga Bachina ge babbyemu ssente.

Poliisi enoonya abanyaze Ab...

OKUTYA kujjudde mu maka e Kyambogo awaali  obunyazi gye baagezaako okutuga munnansi wa China ne banyaga ssente ...